ABALAMBUZI okuva mu Gwanga lya Ghana basabye abakulembeeze bamawanga ga Africa okukkaanya basobole okukkiriza abantu okuyingira amawanga gaabwe awatali bukwakkulizo.bungi kubanga yengeri esobola okuyamba okutumbula ebyobulambuzi mu Africa.
Abalambuzi okuva e Ghana
Bano nga bali wansi we kibiina kyabwe ekimanyibwa nga The Trans African Tourism and Unity Campaign ekirimu abamawulire kwosa n'abakungu abalala abakulembedwamu Ras Mubarak ayaliko Omubaka mulukiiko lwe Gwanga lya Ghana olukulu , Bano bakutambula amawanga 39 okuli Uganda , Kenya , Togo , Benin, Nigeria , Cameroon namawanga nga obugenyi mu Uganda bwa naku 7 era nga bwa bakungu 11 .

Abalambuzi okuva e Ghana
Ras Mubarak akulembedemu enteekateeka eno nga balambudde ebifo okuli Ndere center, Uganda Wild life Education Center , Kasubi Tombs nawalala era ono mukwogera ko eli ategezeeza nti musanyufu okulyako mu Uganda naye nasaba abakulembeze bamawanga ga Africa okukuliza abantu nadala abalambuzi okuyingira mukufuluma amawanga ga Africa awatali bukwakulizo bwa manyi nga kino kirina kolebwa nga bagyawo Visa kubanga yemu kungeri yokulakulanya ebyobulambuzi mu Africa .

Abalambuzi okuva e Ghana
Assembyeyo nga asaba amawanga gano okufuba okwongera amanyi mu kukulakulanya enguudo wamu nensula okuli wooli ezomulembe nga zizimbibwa kisobozese abalambuzi okweyagala .