Amawulire

Kkwaaya zikung'aanye okuyimba ennyimba z'amazaalibwa ku Vision Group

Olwaleero, kkwaaya ez'enjawulo, zikungaanidde ku kitebe kya Vision Group e Lugogo mu Kampala, okuyimba ennyimba ez'amaloboozi ez'Amazaalibwa.

Kkwaaya zikung'aanye okuyimba ennyimba z'amazaalibwa ku Vision Group
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Olwaleero, kkwaaya ez'enjawulo, zikungaanidde ku kitebe kya Vision Group e Lugogo mu Kampala, okuyimba ennyimba ez'amaloboozi ez'Amazaalibwa.

Kkwaya ez'enjawulo nga zituuka ku kitebe kya Vision Group amakya g'olwaleero

Kkwaya ez'enjawulo nga zituuka ku kitebe kya Vision Group amakya g'olwaleero

Kkwaya ezeetabyemu kuliko eya St. Cecilia Bweyogerere Catholic , Cherubim Orthodox, St. Donozio Jinja Kalooli.  Endala, kuliko Rwenzori Kampala Fellowship Anglican, ne St. Johns Kasubi.

Bp. Nsubuga ne Rev. Muwonge

Bp. Nsubuga ne Rev. Muwonge

Omugenyi omukulu, abadde Omulabirizi w'e Luweero eyawummula ne Maama, Bishop Eridaadi Nsubuga ng’awerekeddwako Rev. Samuel Muwonge ne bannaddiini abalala.

Aba St Andrews Kasubi nga bayimba

Aba St Andrews Kasubi nga bayimba

Mu kwogera kwe, akulira kkampuni ya Vision Group Don Wannyama, ng'ali n'omukung’aanya ow’oku ntikko Barbara Kaija, asiimye kkwaya zino olw'amaloboozi amalungi era n'agamba nti baludde nga bakolagana n'amasinzizo ne bannaddiini ku mirimu egy'enjawulo.

Tags:
Vision Group
Kkwaaya
Kuyimba
Kukung'aana
Mazaalibwa