Amawulire

Haaj Kakande alaze lwaki Buganda erina okulonda Pulezidenti Museveni

OMUTEESITEESI omukulu mu ofiisi ya Pulezidenti, Haaj Yunus Kakande alaze Pulezienti Museveni enkulaakulana gyakoze mu Buganda nannyonnyola lwaki abantu mu Buganda balina okumulonda mu kulonda kwa 2026.

Haaj Kakande ng'annyonnyola
By: Ssaava Peter, Journalists @New Vision

OMUTEESITEESI omukulu mu ofiisi ya Pulezidenti, Haaj Yunus Kakande alaze Pulezienti Museveni enkulaakulana gyakoze mu Buganda nannyonnyola lwaki abantu mu Buganda balina okumulonda mu kulonda kwa 2026.

Kakande yagambye nti mu myaka gye 70, akawuka akaluma emmwanyi kaalumba Buganda era emwanyi ezisinga nezifa. Kyokka nti Gavumenti ng'eyita mu Operation Welath Creation, baanyonya eddagala era bangi naddala e Masaka bafunye mu kulima emmwanyi.  Kakande ng'asinziira mu ggombolola ye Masuliita e Wakiso mukulambula ezimu ku nnimro ez'enjawulo, yagambye nti nabamu bawereddwa endokwa ez'omulembe zebasimbye nebasobola okwejja mubwavu.
Ono era yalaze nti enguudo nnyingi ezikoleddwa okuli olwa Matugga-Kalasa-Mawale-Semuto-Kapeeka-Butalangwa luyiriddwa kkolaasi nga nendala okuli Kakiri- Masuliita, Ssentema-Bukasa-Kakiri nendala nnyingi zigenda kuyibwa kkolaasi.

Yayongedde nalaga nti amakolero mangi agareteddwa mu Buganda agayambye ku bavubuka okufuna emirimu. Amakolero okuli ag'e Kapeeka agakola Tiles, amakolero agayaluza enkoko e Luweero, amakolero agakola ebintu eby'enjawulo e Namanve gonna Pulezidenti Museveni yagareese."Ku luguudo lwa Hoima, amakolero mangi agatandikiddwako, okutuukira ddala e Kiboga, nga gano gonna gawadde abavubuka emirimu, ssaako okukulakulanya ebitundu." Kakande bweyayongeddeko.


Yalaze nti mukisaawe ky'ebyenfuna, Buganda yekulembedde kuba erina akatale kanene nnyo mu Buganda nga nebintu bingi ebiva mubitundu by'eggwanga eby'enjawulo ebiretebwa mu Buganda ate nga byattunzi okuli n'amata.
Yagambye nti mukiseera nga Pulezidenti Museveni ayingidde Buganda okunoonya akalulu akamuzza muntebe mukulonda kwa 2026, abantu ba Buganda basanye bamulage essanyu kuba n'okuzza obwakabaka kyakolebwa Museveni.
Yalaze ebitongole by'ettaka mu Buganda, amasomero okuva ku pulayimale, siniya ssaako ne Yunivasite wamu n'ebizimbe eby'omulembe okuli Muganzirwazza, Masengere nebirara byonna bitukiddwako kumulembe gwa Museveni.
Kakande yagambye nti Gavumenti efubye okutekawo buli mpereza eyamba abaana n'abantu abakulu okukyusa embeera zaabwe wadde nga abamu babadde batabikiriza eby'obufuzi nebakomekkereza nga tebafunyemu.
Yannyonnyodde nti amatendekero g'ebyemikono Gavumenti getaddewo gayambye nnyo abavubuka okubaako bye bayiga nebafuna n'emirimu mu Gavumenti okuli abayiga okutunga, okukanika, okukola mumazzi nebirara.
Kyokka yebazizza nnyo Museveni olw'okureeta enkola ya PDM eyambye nnyo abantu ku miruka okukulakulana nga bakozesa akakadde akabawebwa, era nagamba nti Buganda yawebwa enkizo nti ebitundu ebimu nga Wakiso PDM agenda kweyongerako.

Ye ssentebe w'abaana babalwanyi, Muwada Namwanja, yategezezza nti balindiridde Museveni mu ssanyu naddala lwagenda okulabikako mu Wakiso ng'anoonya akalulu.
Yagambye nti basanyufu okuba nga Museveni alina bingi byakoledde Wakiso ne Buganda okutwaliza ewamu, era nti nebyo ebikyagenda mu maaso okukolebwa omuli enguudo, balina essuubi nti bijja kumalirizibwa.