Omusajja abadde ateekateeka okugattibwa empeta ne mukyalawe, bamusse, omulambo gwe ne bagusuula mu Mabira ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.
Ssalongo Macheke Owere 78, ng'abadde mutuuze w'e Makata mu muluka gw'e Seeta - Nazigo mu Ggombolola y'e Nakisunga e Mukono, yattiddwa eggulo.
Ono, abadde alina edduuka mu kitundu ekyo era ng'embaga yaabwe, ne mukyala we Nnalongo Prossy Namirembe, ebadde yakubaawo nga January 30 omwaka ogujja.
Kitegeezeddwa nti waliwo eyamukubidde essimu, ng'amusuubiza okumuwa ssente z'omukolo era olwavudde awaka, bazzeemu kuzuula mulambo nga gusibiddwamu akaguwa mu bulago nga gusuuliddwa mu Mabira.
Ssalongo Owere, abadde alina oluganda ne mukozi munnaffe era kansala e Gganda, Abu Batuusa. Kigambibwa nti abadde n'enkaayana z'ettaka