Amawulire

Muntu asiimye Pulezidenti Museveni olw'okuggya amagye ku nnyanja

GEN.Mugisha Muntu asiimye Pulezidenti Museveni olw'okuggya amagye ku nnyanja agaludde nga gasuza abavubi nga bakukunadde era n'amuwabula okujjukira byonna ebyabatwala mu nsiko.

Muntu asiimye Pulezidenti Museveni olw'okuggya amagye ku nnyanja
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

GEN.Mugisha Muntu asiimye Pulezidenti Museveni olw'okuggya amagye ku nnyanja agaludde nga gasuza abavubi nga bakukunadde era n'amuwabula okujjukira byonna ebyabatwala mu nsiko.

Abamu ku batuuze e Mbale nga bawuliriza Mugisha Muntu

Abamu ku batuuze e Mbale nga bawuliriza Mugisha Muntu

Kino kyaddiridde Pulezidenti Museveni okusattulula akakiiko k'amagye akabadde kassibwa ku Nnyanja okulwanyisa envuba embi abavubi ke baludde nga beemulugunyaako okubawambako ennyanja n'okubatulugunya.

 

Muntu bw'abadde asaggula akalulu e Mbale, yasiimye abavubi olw'okubeera abamalirivu ne beerwanako ne batatya kugamba ku gavumenti nti amagye ge yassa ku nnyanja okulwanyisa envuba embi nti ate gabanyigiriza bunyigiriza.

 

Yasabye Bannayuganda abalala yonna gye bali obutatya kusitulanga maloboozi gaabwe ku nsonga ezibanyigiriza.

 

Eno Muntu asiimye Pulezidenti Museveni olw'okuwuliriza okwemulugunya kw'abalunnyanja n'asalawo okuggya amagye ku nnyanja n'ategeeza nti ateekwa okuddayo ku nnono ezaabatwala mu nsiko okulwanyisa Obote awulirizenga Bannayuganda era akole ku bizibu byabwe awatali kubalinnyirira.

 

Muntu agambye nti ssinga Museveni yeeyambisa ebbanga lino ly'asigazza mu ntebe okutuuka mu kulonda okugonjoola ebizibu ebiruma Bannayuganda.

Mu bino mulimu; ebbula ly'eddagala mu malwaliro, enguzi n'ebirala nti bw'abikola akalulu ne bwe kaba kamukubye Bannayuganda baakusigala nga bamuwa ekitiibwa nga eyaliko omukulembeze w'eggwanga.

Mu ngeri y'emu Muntu alabudde ku bubbi bw'obululu n'asaba bonna abakwatibwako obuteetantala kubba bululu baleke Bannayuganda balonde mu mirembe.

Muntu era asuubizza abantu b'e Mbale nti bw'akwata obuyinza wakwongera okuvujjirira Bugisu Cooperative Union okuyamba abalimi b'emmwanyi okusobola okwekulaakulanya n'okuziganyulwamu.

Tags:
Kalulu
Kunoonya
Ssekukkulu
Nnyanja
Magye