OLUGUUDO oluva e Mityana okudda e Mubende olubadde lututte ekiseera nga kontulakita yaluvaako luzzeermu okukolebwa .
Kino kiddiridde gavumenti okusasula kkampuni ya Energo ebidubdu 90 ku 100 ku ssente zeebadde ebanja ku mulimu ogwakaggwa okukola...
General Katumba Wamala minisita w'ebyenguudo n'entambula mu kulambula omulimu ogukolebwa ku luguudo luno ku Lwokuna yagambye nti ssente obuwunbi 10 zebakyabanja ku kitundu ekyakakokwako zigenda kubaweevwa omwezi guno.
Oluguudo luno okuli obuwanvu bwa kkiromita 100 ng'ozingiddemu n'amakubo agayita mu kibuga Mityana lwatandika okukolebwa ku mwaka gwa 2021 nga lwalina okuggwa mu 2024 wabula nelwongezebwayo okutuuka mu March wa 2027.

Oluguudo olugenda okkolebwa
Wonnma awamu oluguudo lwa kuwemmenta obuwumbi bwa ssente za Uganda 395 nga zonna zonna ziva mu gavumenti ya Uganda.
General Katumba yalagidde kontulakita oluguudo okutandika okululola mi bintu byebasobola omula amangu okutaasa abantu okutaasa abatuuze .n'abantu abakweyambisa enfuufu.
Kontulakita ekyasigazzayo kkiromita nga 38 omulimu gonna okuggwa.Oluguudo luno luyita mu disitulikiti ssatu omuli Mityna, Mubende ne Kassanda nga luyisa ebidduduka okuva mu Kmapala okutuuka e Hoima okuytuuka ku ndsalo ya DR Congo.
Oluguudo luno lwasooka okukolebwa mu myaka gya 80 nga giggwaako mu nkola y’okuwanyisiganyamu ebyamaguzi eya mpa -nkuwe (Bbata ne gavumenti ya Yugoslavia ne Uganda gyewa ebijajaalo nebatuloleramu oluguudo luno.
Oluguudo lwa Mityana- Mubende lwerumu ku nguudo ezikyasinze okuwangaala nga terunaddibwamu kuddabiriozibwa