Amawulire

Muwanga Kivumbi Poliisi emukutte

OMUBAKA wa parlaiment e Butambala, Muwanga Kivumbi, akwatiddwa poliisi ne bamuggalira ku misango egy'enjawulo.

Muwanga Kivumbi
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

OMUBAKA wa parlaiment e Butambala, Muwanga Kivumbi, akwatiddwa poliisi ne bamuggalira ku misango egy'enjawulo.

Kidiridde akavuyo akagambibwa okubeera mu kulonda okwakaggwa mu kitundu ekyo , mwe baakubira abawagizi amasasi agaabatta , n'abalala ne bakwatibwa.

Pulezidenti Museveni yavuddeyo n'agamba nti abamu ku battibwa , baalina ebijambiya nga bagezaako okulumba abasirikale babateme n'okubatuuseeko ebisago.

Omwogezi wa poliisi e Katonga Lydia Tumushabe,  akakasizza okukwatibwa kw'omubaka n'agattako nti ekiseera kyonna, wakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.