Amawulire

Enkalu mu kalulu ka Kalungu West, Ssewungu baagala kumusuuza kifo

KKOOTI e Masaka etuula leero okusalawo ku ky’okuddamu okubala obululu ku kifo ky’okubaka wa Kalungu West ekyawanguddwa Joseph Gonzaga Ssewungu.

ssewungu ne ssemakula
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

KKOOTI e Masaka etuula leero okusalawo ku ky’okuddamu okubala obululu ku kifo ky’okubaka wa Kalungu West ekyawanguddwa Joseph Gonzaga Ssewungu.
Kino kiddridde eyakutte ekyokubiri, Ismael Ssemakula okuddukira mu kkooti e Masaka ng’agisaba okuddamu okubala ebyava mu kalulu mu kitundu kino ng’alumiriza nti, waaliwo ensobi mu byalangirirwa.
Akulira eby’okulonda e Kalungu, Teddy Nabukenya yalangirira Ssewungu ku buwanguzi n’obululu 10,106 ate Ssemakula n’afuna 10,060 kyokka Ssemakula alumiriza nti, akakiiko k’ebyokulonda kaakoze ensobi mu kubala nga waaliwo n’ennukuta ezimu ze kateetegereza.
Mu birala by’asimbyeko kwekuba nga Ssewungu yakwatagana n’abakulira eby’okulonda ku buli kitundu mu bugenderevu ne batta obululu bwe nga beekwasa nti, abalonzi baateeka ttiiki ku kifaananyi, abalala ku ssaawa n’abalala mu kabookisi kyokka nga teyayitamu kugenda mu layini ya muntu mulala era nga wano ku bululu 258 obwabalibwa nti, bufu alinako 150.
Ssemakula yategeezezza nti, ebimu ku bintu bye baakung’aanya ebitali bikakase byali biraga nti, Ssewungu yalina obululu 7,500 mu bookisi era ng’ebyo ebirabikira ku ffoomu kwe baalangirira baabyongeza n’okumulangirira ku 10,106 yaliyise kkobaane n’akakiiko k’ebyokulonda okumubbira ate ne kamufuula omuwanguzi ekintu ye ky’awakanya.
Looya wa Ssewungu, Samuel Muyizzi yategeezezza Bukedde nti, beetegefu okwanukula ebyo bye babavunaana kubanga Ssewungu yawangudde mu butuufu era mu mazima.
Okuvuganya kwa Kalungu West kwalimu abantu abalala okuli owa NRM era nga ye Ssentebe w’ekibiina mu disitulikiti eno Hajji Twaha Kiganda Ssonko, eyafuna obululu 2212, Owa DF Michael Matovu Birimuye eyafunye obululu 555 ne munnaDP James Balikuddembe eyafuna 137.