Omuvubuka agambibwa okukuula nnamba ppuleeti okuva ku mmotoka z'abantu n'asaba ssente okuzibaddiza, akwatiddwa poliisi.
Joshua Ainembabazi 22, omutuuze w'e Bukeerere mu disitulikiti y'e Mukono y'agambibwa okukwatibwa ne nnamba ppuleeti 14 ng'azikukulidde.
Kigambibwa nti abadde asaba bannyini mmotoka ssente wakati w’emitwalo 10 ne 20 okuzibaddiza eri oyo abeera ayagadde.
Kitegeezeddwa nti okumukwata, kiddiridde okubba nnamba ppuleeti okuva ku mmotoka mu bitundu bya Akright e Kajjansi mu Wakiso wakati wa Jan 20 okutuuka nga Jan 24 era ng'abeebyokwerinda bamuggye Ssonde Mukono.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti ekikwekweto kikyagenda mu maaso okuzuula n'endala.