KKOOTI egaanyi okuddamu okubala obululu ku bifo eky'omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Kayunga n'eky’omubaka owa Ntenjeru South ng’abaawangulwa ku bifo
ebyo bwe baali bagisabye.
Akulira abalamuzi ba kkooti ento e Kayunga, John Francis Kaggwa agobye emisango gy'abawaabi era n'akakasa obuwanguzi bwa Harriet Nakweede ku kifo ky'omubaka
omukyala wamu n'obwa Fred Baseke owa Ntenjeru South. Jackline Birungi Kobusingye owa NRM eyafuna obululu 37,246, ye yaddukidde mu kkooti ng’agamba Nakweede owa NUP eyafunye 38,547 teyamuwangudde mu bwenkanya kubanga waliwo ebifo 1ebitaabalibwa.
Obwedda omulamuzi asoma
ensala y'omusango nga Nakweede yeewombeese ali mu ssaala era oluvannyuma lw'omulamuzi okukifulumya nti omusango agugobye, Nakweede ne puliida we baalabiddwa nga bajaganya.
Birungi ne bannamateeka be tebaalabiseeko mu kkooti! Omulamuzi Kaggwa emisango yagigobye ng’agamba nti abawaabi tebaaleese mpapula zikakasa nti obululu bwabwe tebwagattibwa bulungi era alagidde akakiiko k'ebyokulonda kagende mu maaso
n'okukuba Nakweede ne Baseke mu kyapa kya Gavumenti ekitongole.
Nakweede wakati mu ssanyu, yeebazizza Katonda olw'eddaala ly'amutuusizzaako era ne yeebaza ekitongole ekiramuzi olw'okusala amazima.
Bannamateeka okuli Andrew Wabwezi ne Mudyobole Abedi Nasser bagambye nti empapula abawaabi ze baaleese mu kkooti tezaakakasiddwa kakiiko ka byakulonda kubanga tekwabadde sitampu era ne basanyukira eky'omulamuzi okugoba omusango
guno.