Amawulire

Muwala wa munnamawulire wa Bukedde afunye 7!

Leticia Musekwa  13 nga, muwala wa munnamawulire Donald Kiirya agasakira e Jinja n’ebintu ebiriraanyeewo yafunye obubonero 7 mu bigezo bya PLE era n’ategeeza nti ayagala kusoma obusawo bw’abaana ajjanjabe abaana awamu n’okutaasa obulamu bwabwe mu malwaliro. 

Muwala wa munnamawulire wa Bukedde afunye 7!
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

Leticia Musekwa  13 nga, muwala wa munnamawulire Donald Kiirya agasakira e Jinja n’ebintu ebiriraanyeewo yafunye obubonero 7 mu bigezo bya PLE era n’ategeeza nti ayagala kusoma obusawo bw’abaana ajjanjabe abaana awamu n’okutaasa obulamu bwabwe mu malwaliro.

Musekwa, muwala wa Donald Kiirya era abadde asomera ku Vic View Primary School mu Jinja North Division, mu kibuga Jinja. Yafunye D2 mu Lungereza, D1 mu Science, D1 mu kubala  ne C3 mu Social Studies.

Musekwa eyasangiddwa mu maka ga bazadde be e Wanyange Central ward mu kibuga Jinja, ategeezezza nti obuwanguzi buno abwesigamya ku Katonda, abazadde be abamubeereddewo, abasomesa be n’entegeka y’okusoma ennungi.

"Okusoma kijja kunnyamba okufuna obukodyo bwe neetaaga okuyamba abalala era kye kisumuluzo ekijja okuntuusa ku biruubirirwa byange," Musekwa bwe yagambye.

Tags:
Bukedde
Muwala
Munnamawulire
Kukola
P7