Amawulire

Olupapula lwa Bukedde lukuleetedde eky’enjawulo ku bigezo bya P7

OLUPAPULA lwo oluganzi olwa Bukedde lugenda kufulumya ebyavudde mu bigezo bya P.7 mu bujjuvu mu katabo ka Bukedde ku wiikeendi, n’ennaku endala ezinaddirira.Ebyavudde mu bigezo bino bigenda kufulumizibwa olwaleero okusinziira ku mwogezi wa UNEB Jeniffer Kalule Musamba.

Micheal Mukasa Ssebbowa omukungaanya w'olupapula lwa Bukedde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OLUPAPULA lwo oluganzi olwa Bukedde lugenda kufulumya ebyavudde mu bigezo bya P.7 mu bujjuvu mu katabo ka Bukedde ku wiikeendi, n’ennaku endala ezinaddirira.
Ebyavudde mu bigezo bino bigenda kufulumizibwa olwaleero okusinziira ku mwogezi wa UNEB Jeniffer Kalule Musamba.
Abayizi 817,885 be baatuula ebigezo bya PLE omwaka oguwedde nga November 3 ne 4, 2025, mu masomero 16,140 okwetooloola eggwanga. Kwaliko abawala 428,356 n’abalenzi 389,529.
Gavumenti ebadde esasulirako abayizi 522,039, bye bitundu 64 ku 100 mu nteekateeka ya bonnabasome (UPE), ate abasigadde 295,846 nga bakola ebitundu 36 ku 100 babadde beesasulira mu masomero ag’obwannannyini.
Omukung’aanya wa Bukedde Michael Mukasa Ssebbowa yagambye nti Bukedde etaddewo omukisa gw’okufulumya abayizi abakoze obulungi mu mawulire ku bwereere. Bwoba n’omuyizi eyayitidde mu ddaala erisooka, muleete ku ofiisi za Bukedde oba osindike ekifaananyi kye n’obubonero bwe ku nnamba eziri wammanga.
Ate amasomero agaagala okulaga abantu nga bwe gaakoze, nago galina omukisa okulaga engeri abayizi baago gye bakozeemu, ku miwendo emisaamusaamu. Ow’essomero olina okuleeta obubonero abayizi bwe baakoze okusinziira ku nkalala za UNEB.
Ssebbowa yagambye nti enkola eno Bukedde yagitandikawo n’ekigendererwa eky’okuyamba abazadde n’abayizi okwenyumiriza mu byenjigiriza, n’okusikiriza abayizi abalala okusoma, nga balabira ku bannaabwe abayise obulungi.
Era tujja kufulumya emiko egy’enjawulo nga tukulaga engeri amasomero gye gakozeemu mu disitulikiti ez’enjawulo okwetooloola eggwanga.
Omuzadde alina omuyizi eyakoze obulungi, oba ow’essomero ayagala okufulumya engeri abayizi bo gye baakozeemu, tutuukirire ku nnamba 0701 – 699745 oba 0772 – 204972. Zonna ziri ku Whatsapp.