Amawulire

Gavumenti efunye obuwumbi 2000 okuleeta amazzi amayonjo, amasannyalaze n’enguudo

MINISTULE y'ebyensimbi efunye ssente ezisoba mu buwumbi ez'okweyambisa okuddaabiriza enguudo, okutuusa amazzi amayonjo n'amasannyalaze ku bannansi mu bitundu by'eggwanga eby’enjawulo.

Gavumenti efunye obuwumbi 2000 okuleeta amazzi amayonjo, amasannyalaze n’enguudo
By: Jaliat Namuwaya, Journalists @New Vision

MINISTULE y'ebyensimbi efunye ssente ezisoba mu buwumbi ez'okweyambisa okuddaabiriza enguudo, okutuusa amazzi amayonjo n'amasannyalaze ku bannansi mu bitundu by'eggwanga eby’enjawulo.

Ebitundu ebigenda okutuusibwako amazzi amayonjo kuliko distulikitti y'e Nakasongola, Kamuli, Bugweri, Mayuge ne Alebtong nga wonna basuubira nti abantu emitwalo 74 be bajja okuba nga bagaganyuddwaamu we tunaatuukira mu 2030.

Minisita W’ebyensimbi, Matia Kasaija Ne Dayirekita Wa Bbanka Ya Standard Chartered,sujithav Sarangi Nga Bamaze Okuteeka Omukono Ku Ndagaano Ya Ssente Z’ebyenkulaakulana.

Minisita W’ebyensimbi, Matia Kasaija Ne Dayirekita Wa Bbanka Ya Standard Chartered,sujithav Sarangi Nga Bamaze Okuteeka Omukono Ku Ndagaano Ya Ssente Z’ebyenkulaakulana.

Amasannyalaze baakwongera okugasaasaanya mu bifo awali amakolero ne mu bibuga. Ku ssente ministule z’efunye, tiliyooni emu n'omusobyo zaakukozesebwa okwongera amaanyi ku bbibiro ly'amasannyalaze erya Karuma basobole okugatuusa mu bibangirizi eby'amakolero mu distulikitti y'e Tororo .

Enguudo ezitunuuliddwa okukolebwa kuliko n’ezo ezigenda okuyambako ku pulojekiti y'amafuta g'eggwanga okuli olwa Karugutu- Ntoroko, Rwebisengo n'olwa Ntoroko Town.

Minisita w'ebyensimbi, Matia Kasaija yakakasizza nti ssente zino za looni era nga Gavumenti yaakuzisasula mu myaka 8 - 10.

Ssente zaabawoleddwa bbanka ya Standard Chartered ng’eri wamu n'abavujjirizi b'obuyambi okuli Gavumenti ya Sweden, China n'ekitongole kya yinsuwa ekya Islamic Corporation. 

Bano baatadde emikono ku ndagaano nga basinziira mu lukuhhaana lw'abaamawulire ku ofiisi za minisitule y'ebyensimbi mu Kampala ku Lwokutaano.

Kasaija yagambye nti, kino bakikoze okwongera okusitula ebyenfuna by’eggwanga okuva ku buwumbi bwa ddoola 53 okutuuka ku buwumbi 500 (we bunaatuukira mu 2040 .

Minisita w'ebyentambula Edward Katumba Wamala yagambye nti ku mulundi guno tewagenda kubaawo kyekwaso era omulimu gw'okukola enguudo ezirambikiddwa gwakuggwa mu budde kuba bakontulakita baabafuna dda, ssente bazifunye ate n'ettaka ebitundu 80 ku 100.

Tags:
Masannyalaze
Mazzi mayonjo
Buwumbi
Kufuna
Nguudo