AKULIRA eddwaliro lya Gavumenti erya China-Uganda Friendship Hospital, Dr. Irene Nayiga asabye abantu abatwala abalwadde baabwe okubajanjjabira mu ddwaliro lino ne bafa okubakima ng’amangu olw’obufunda bw’eggwanika.
Abadde mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensaasaanya y’ensimbi y’omuwi w’omusolo (PAC- CENTRAL )okwanukula ebyasigala birumira mu kunoonyereza okwakolebwa omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti mu mwaka gw’ebyensimbi 2024/2025.

Dr. Irene Nayiga Ku Kkono N'abakungu Abalala Nga Bali Mu Kakiiko
Yasoose kutegeeza nti bavunaanyizibwa okusingira ddala okujjanjjaba abantu abali mu kibuga Kampala wadde nga n’abava mu Kampala n’emiriraano babakolako.
Kyokka basanga okusoomooza oluusi ng’omuwendo gw’abantu abafudde mungi okusinziira ku abo eggwanika be lisobola okutereka.
Emirambo 4 gyokka yagambye gye girina okubeera mu ggwanika kyokka abantu lwe bafudde abangi beesanga bonna babanyigirizza omwo.
Amyuka ssentebe w’akakiiko Goreth Namugga (mukazi Mawogola South) kye yavumiridde n’ategeeza nti okwo kubeera kulinnyirira ddembe lya bafu n’asaba banne ku kakiiko okusala amagezi eggwanika ligaziyizibwe.
Nakku yagenze mu maaso n’ategeeza ababaka nti ssinga omulwadde afa ne wayita wiiki bbiri nga ab’enganda tebannakima mulambo , bawalirizibwa okuyita KCCA okulaba ng’egutwala.
Okusoomooza okulala kwe yanokoddeyo kwe basanze lye bbanja lya masannyalaze erituuse mu bukadde 124 so ng’erya mazzi liri obukadde 120.