POLIISI eyigga abantu abatannategeerekeka abaalumbye amaka ga ssentebe wa zooni ya Kigwanya e Busega ne bagoonoona n’okubba eby’omu nju.
Obulumbaganyi buno bwabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano, nga kigambibwa nti abavubuka abaabadde mu kibinja baalumbye amaka ga Pius Kabuye Mukasa agasangibwa ku nkulungo y’e Busega ne bagakoonakoona.
Ssentebe Kabuye agamba nti, zaabadde ssaawa nga 8:30 mu kiro, abantu abaabadde batadde obukookolo ku maaso nga bakutte amajambiya, emiggo n’ebissi ebirala, baalumbye amaka ge.
Agamba nti, wadde ab’awaka baakubye enduulu, abalumbaganyi bakkakkanye ku nnyumba ne bagikoonakoona ne baggyamu enzigi n’amadirisa gonna ne gayiika.
“Baatadde maama wange, Rose Ssekawaya ekiso ku bulago nga bamukanda ekyapa ky’ekifo ekyo wabula n’agaana ne bamusamba. Abantu abaabadde batandise okujja n’okukubira abalala amasimu beeyongedde nga bano be baagumbuludde abavubuka bano wabula baakutteko babiri,” Kabuye bwe yagambye.
Abaakwatiddwa, baakubiddwa bya nsusso, ne boogera omugagga omu muliraanwa wa ssentebe nti ye yabawadde omulimu guno.
Poliisi y’e Busega yatutte abavubuka bano kyokka nga bali mu mbeera mbi. Omu ku booluganda, Patricia Nalukenge agamba nti, naye abavubuka bano baamukubye mizibu ng’agezaako okutaasa nnyina.
Agamba nti mu bulumbaganyi buno, baababbyeeko essimu zaabwe ezisukka mu 5, ttivvi, laputoopu, n’ebintu ebyangungu.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire agambye nti, ekikolwa ekyakoleddwa kibi nnyo naye bagenda kunoonyereza nga poliisi okulaba abavunaanyizibwa ku nsonga eno.