IRAN ereese Genero omukambwe nnamige akwate mu lutalo lwayo ne America.
Okumanya mukambwe, tewali mujaasi n’omu akkirizibwa kuggya lugalo ku mmanduso. Okukikola omala kufuna lukusa.
Okukuwa olukusa okuggyako olugalo ne bwe kaba kaseera katono, abaduumizi n’abakessi bamala kukakasa nti tewali mulabe, waliwo abajaasi abalala abamala ssinga omu oba abamu, baba baggye engalo ku mmanduso.
Genero Mohammad Pakpour eyalondeddwa okuduumira eggye lya Iran’s Islamic Revolutionary Guard Corps, alinga agamba nti ssekabwa kaali kakulumye, bw’okalaba okadduka ng’akiggya ku ngeri Yisirayiri ne America bwe zaalumba Iran omwaka oguwedde.
Amawulire ga The Times of Israel agaasomodde emboozi eno, gaawandiise ebigambo ‘finger on the trigger’ ebitegeeza obutaggya lugalo ku mmanduso.
Genero Mohammad bwe yamaze okuwa ebiragiro ebyo n’alabula nti, ku luno eggye lye liri bulindaala okufaafaagana n’ensi yonna erumba Iran.
Omukutu gwa Iran ogwa Telegram guliko obubaka bw’akakiiko ka Iran ak’ebyokwerinda aka Iran’s Supreme National Security Council, nga kalaga eggwanga eryo bwe lyetegese ennyo ku kyonna ekiddako.
Mu ngeri erabika nga yaakutiisatiisa, Genero oyo yalabudde America eby’okulumba Iran ebyewale kubanga ebiddirira tebijja kuba birungi.
Wabula ensi gy’alabula, Pulezidenti waayo Donald Trump ate naye yalabudde nti, okusinziira ku bungi n’amaanyi g’emmundu z’ayungulidde Iran, omukambwe waayo Ayatollah Ali Khamenei ne basajja be bandibadde banguya okukola ddiiru ne America ne beewala olutalo.
Ensonda zigamba nti, Iran eri mu kusala magezi efune bw’eteesa ne America nga ky’esinga okutya mu lutalo luno, kwe kuddamu okukuba fakitole za nukiriya waayo.
Trump anenya Iran okutta abantu abasoba mu 5,000 abeetabye mu kwekalakaasa olw’ebbeeyi y’ebintu erinnye mu Iran.
Abantu abalala 800 abaakwatibwa mu butabanguko obwo nabo baasalirwa kya kuwanikibwa ku kalabba, America ky’ewakanya.
Obutabanguko bwakkakkanye olw’amaanyi Gavumenti ge yatadde ku beekalakaasi nga n’okufa kususse.
Genero Mohammad ye yakkakkanyizza obutabanguko obwo ekyamuweesezza n’obuduumizi bw’olutalo olubindabinda.
Mu kiseera kino, America yetoolozza Iran amagye g’esimbye mu mawanga n’agayanja gonna agagiriraanye.
W’osomera bino, ng’abajaasi ba America n’entuumu y’ebyokulwanyisa gye yayungulidde Iran, byetooloozeddwa eggwanga eryo erudda n’erudda ku buli nsalo yaayo.
Emmundu bw’etandika okuseka, Iran egenda kukubwa okuva mu buvanjuba n’obugwanjuba, amambuka n’amaserengeta nga gwaka.
Wabula Iran nayo yeetegese era esimbye emmundu ez’amaanyi nga kye kyaleetedde America okwongera amaanyi mu kuyungula emmundu endala ez’omutawaana n’abajaasi.
Omukutu gwa Wikipedia gulaga America bw’erina amagye ebweru waayo agasukka emitwalo 16 ng’agasinga gali mu Kyondo Kya Buwalabu.