OMUSAJJA agambibwa nti aludde ng'atambula mu masinzizo ag'enjawulo ng'abika muwala we ow'emyaka 9 n'akanda abagoberezi amabugo , poliisi emukutte.
David Asabaheebwa 36 omutuuze w'e Kirombe mu Makindye, y'akuumirwa ku poliisi e Kabalagala, ku bigambibwa nti aludde ng'atambula mu masinzizo ag'enjawulo ne mu bantu, ng'asaba amabugo.
Ku ssande ewedde, kigambibwa nti yagenze ku kkanisa ya St. Steven era n'abikira omusumba n'abagoberezi olw'okufiirwa muwala we ow'emyaka 9 .
Kitegeezeddwa nti waabaddewo Omusumba omulala okuva e Gayaza, nga nayo yasaba abagoberezi baayo ssente z'amabugo ku kikolwa kye kimu kwe kutemya ku poliisi emukutte.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, ategeezezza nti baamuguddeko omusango gw'okufuna ssente, mu lukujjukujju ng'okunoonyereza , kugenda mu maaso.