OMUBAZI w’ebitabo bya Gavumenti omukulu, Edward Akol alaze emivuyo egifumbekedde mu nteekateeka ya Gavumenti eya PDM eyagenderera okuggya Bannayuganda mu bwavu.

Akol Ng’akwasa Sipiika Among Lipooti. Ku Ddyo Ye Minisita Musaasizi.
Enteekateeka eno, yatongozebwa mu mwaka gw’ebyensimbi 2021/2022 nga kati ewezezza emyaka 4. Akol mu kukwasa sipiika wa Palamenti, Anita Among lipooti eggalawo December wa 2025, yasinze kwekokkola mivuyo egiri mu nkola ya PDM n’engeri Gavumenti gy’egulamu ebintu byayo wamu n’okutunda ebiba bigikaddiyeeko.
Mu mwaka gw’ebyensimbi 2024/2025, Palamenti yayisa obuwumbi 1,100 wansi w’enkola ya PDM obwalina okuweebwa SACCO 10,594 mu Gavumenti z’ebitundu 176 n’ekitongole kya KCCA.
Ssente zino, lipoota eraga zonna zaaweebwayo nga zikola omugatte gwa buwumbi 3, n’obukadde 382, Gavumenti ze yaakasaasaanya mu nkola eno.
Akol yannyonnyodde nti, abantu baweebwa ssente okusinziira ku bye baalaga bye bagenda okukola nga bwe balaga ku nkola ya ‘Wendi’ eri wansi wa Pearl Bank (Post Bank).
Mu biseera okunoonyereza we kwakolerwa, kyennyamiza abamu tebaalinawo wadde kye balagawo. Abamu bafuna ssente omulundi ogusukka mu gumu, abalala baakyusa mu bye baalina okukola, abamu bakyazirinze ate endala zaabulankanyizibwa.
Waaliwo ne bassentebe b’emiruka 34 abaaweebwa obuwumbi 3 n’obukadde 94 okulondoola enteekateeka ya PDM mu bitundu 6 ku bo ne bezza obuwumbi 9 ne balemererwa okunnyonnyola enkozesa y’obulala obusatu.
Gavumenti z’ebitundu era zaaweebwa obuuma (tablets) okukuuma ‘data’ naddala eri abeewola ensimbi za SACCO wabula lipooti eraga nti mu bitundu ebimu tebukozesebwa.
Ebitongole bya Gavumenti ebimu nabyo byazuuliddwa nga birina kompyuta ezifaanagana wabula ng’ebbeeyi yaazo ya njawulo. Ofiisi ezaazimbibwa ezirina ebipimo ebyenkana mu bitongole eby’enjawulo saako enguudo ezimu nazo kyazuuliddwa nga ssente za njawulo.
Ku nsonga ya PDM, Akol yawanjagidde Gavumenti ebongeze ku nsimbi ezibatambuza okukola obulungi omulimu n’okutuuka mu bifo gye bataatuuka.
Ebirala ebiri mu lipooti, ebyuma mu busenge bw’abayi ebibayamba okussa mu malwaliro ga Gavumenti e Mubende, Fortportal ne Kabale tebikola bulungi sso nga n’omuwendo gw’abasawo gw’abasawo mutono.
Minisita omubeezi ow’ebyensimbi Henry Musaasizi yasuubizza okukola ku nsonga y’ebyentambula zaabwe n’okulaba nga bafuna ssente ezimala okwongera ku muwendo gwa bakozi.