OLUNAKU lwa leero nga tukomekkereza okulonda mu ggwanga , poliisi eyongedde okulabula abantu , okwewala ebikolwa eby’efujjo n'okutiisatiisa, kisobozese abantu okwerondera abakulembeze, be baagala.
Mu ngeri y'emu era poliisi mu Kampala, etegeezezza ng'ebyokwerinda bwe binywezeddwa mu kiseera ky'okulonda ne bwe kunaabeera kuwedde.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, abasabye okugenda okulonda abantu baabwe era n'abagumya nti ebyokwerinda biri ggulu ggulu.
Mu ngeri y'emu era n'omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, naye alabudde ku bikolwa eby'efujjo nti anaakwatibwako waakukangavvulwa.