OMUKOLO gw'okusiibula n'okutereka abadde Ssaabalangira Godfrey Musanje Ngobe gugenda mu maaso mu Makaage agasangibwa ku kyalo Kitegula e Kasawo mu ssaza ly'e Kyaggwe.

Abakungubazi ku mukolo gw'okutereka Ssaabalangira
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yegasse ku bakungubazi enkuyanja abazze okuwerekera omugenzi Ono eyavudde mu bulamu bwensi ku lwokubiri nga yafiridde mu ddwaliro e Kamwokya e Kampala gyeyali atwaliddwa.

Omubiri gw'omugenzi Ssaabalangira Godfrey Musanje
Mu bakulu abalala abali ku mukolo guno ye Minisita Omubeezi owa Tekinologiya mu gavumenti eyawakati, Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwawo, Baminisita ba Buganda Dr. Anthony Wamala ow'ebyobuwangwa, Noah Kiyimba ow'Abagenyi ne Kabineeti, David Kisitu Mpanga ow'ebyettaka n'Abakulu abalala. Olw'okuba nti abadde Ssalongo agenda kuterekebwa ku ssaawa kkumi.