OMULAMUZI wa kkooti y’e Makindye, Robert Magala yasindise munnansi wa Malaysia mu kkomera e Luzira lwa kwetaba mu kutunda zzaabu nga talina lukusa n’okukozesa olukujjukujju okuggya ssente ku bannansi ba China ng’abasuubizza okubaguza zzaabu.
Kon Kin Kheong,56, nga munnansi wa Malaysia ye yasimbiddwa mu kaguli ka kkooti y’e Makindye mu maaso g’omulamuzi Robert Magara n’amusomera emisango ebiri okuli; ogw’okwetaba mu kutunda zzaabu nga talina lukusa, n’okukozesa olukujjukujju okuggya ssente mu bannansi ba China.
Omuwaabi wa gavumenti, Caroline Apio yategeezezza kkooti nga okunoonyereza ku misango gino bwe kukyagenda mu maaso n’asaba omulamuzi omusango agwongezeeyo.
Kigambibwa nti, Kheong ne banne abalala nga January, 5, 2026 e Munyonyo-Makindye, baafuna ssente ddoola 150,000 okuva ku munnansi wa China, Huang Tongyi ng’abasuubizza okubaguza kkiro 50 eza zzaabu bamutwale e Dubai.
Era kigambibwa nti, Kheong ne banne abalala mu bitundu by’e Makindye baasangibwa n’empapula eziriko okukebera zzaabu eza kkampuni ya Eiaci, Logos Holding Group Korea, Ultra Gold Limited, empapula z’okusaanuusa zzaabu, nga talina layisinsi. Emisango gyombi Kon Kin Kheong yagyegaanye, omulamuzi n’amusindika ku limanda okutuusa nga February,17, 2026