Eyakuliddemu okulonda mu muluka gw'e Bubanda mu disitulikiti y'e Mubende n'omusirikale eyabadde amuwerekerako, bakwatiddwa oluvannyuma lw'okusangibwa nga batambuza bokisi okutali seal n'okutaataanganya ebyavudde mu kalulu.
Byabadde ku Ggombolola y'e Kigando mu disitulikiti y'e Mubende, poliisi bwe yakutte abantu bano nga babalumiriza okwekobaana ne bakyusa ebyavudde mu kulonda.
Robert Mutabaazi n'omusirikale SPC, bakuumirwa ku poliisi e Mubende ng'okubuuliriza kugenda mu maaso nga n'ebyokulonda mu kitundu ekyo, byasaziddwamu.
Kyadiridde abaabadde beesimbyewo ku bwa ssentebe bw'e Ggombolola y'e Kigando okuli Amas Tashobya independent ne Emannuel Tashobya eyabadde ku tiketi ya NRM, nga bye balina ku foomu nga tebikwatagana.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lemerk Kigozi, agambye nti babaguddeko emisango esatu okuli okulemererwa okukuuma ebintu bya gavumenti, n'okukyusa ebyavudde mu kulonda n'okulemwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa, ebintu ne babibabbako