Amawulire

ABAVUBI n’abasuubuzi abakolera ku mwalo gwa Port bell e Luzira basattira olw’ekiddo

ABAVUBI n’abasuubuzi abakolera ku mwalo gwa Port bell e Luzira basattira olw’ekiddo ekyakazibwako erya Mubiru ekyazinzeeko omwalo guno ne kijja n’ekivundu kw’ossa n’okufuula amazzi gonna nga ettosi eriri mu langi ya  kiragala.

Amazzi g'ennyanja nga bwegafaanana
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

ABAVUBI n’abasuubuzi abakolera ku mwalo gwa Port bell e Luzira basattira olw’ekiddo ekyakazibwako erya Mubiru ekyazinzeeko omwalo guno ne kijja n’ekivundu kw’ossa n’okufuula amazzi gonna nga ettosi eriri mu langi ya  kiragala.
Embeera eno ereeseewo okusattira mu basuubuzi ku mwalo guno nga bagamba nti tebakyasobola kukola sente nga obuzibu obusinga buva ku kivundu ekisaanikidde ekifo kyonna.

Abamu ku bawangaalira ku mwalo gwa portbell nga bali ku mwalo

Abamu ku bawangaalira ku mwalo gwa portbell nga bali ku mwalo


Omwalo gwa Port bell gusangibwa ku nnyanja Nalubaale nga eno ekitongole ky’amazzi mwekiggya amazzi gekisengejja negakozesebwa mu bitundu bya Kampala n’emiriraano.
Henry Chemba akola omulimu gw’okusaabaza n’okulambuza abantu ababa bazze ku mwalo guno yategezezza nti embeera y’ekiddo kino ebamazeeko nnyo emirembe nga buli lwebaba bavuga amaato, yingini ziroba mu bisubi bino nekiziviirako okukozesa amafuta amangi n’ezimu okufa.
Chemba agamba nti embeera eno ebeerako ne sizoni  nga etera kubeerawo nnyo mu biseera by’omusana naddala wakati wa January ne February kyokka enkuba bw’etandika okutonnya nga kyesala wabula ku mulundi guno ekivundu kyabasuseeko.
Ssentebe w’abasuubuzi ku mwalo guno, Hassan Bogere yategezezza nti embeera y’ekiddo kino ekijja n’ekivundu etera okubeerawo nga obuzibu buva nnyo ku bantu abayingirira entobazi zoku nnyanja.

Abamu ku bavubi nga bali ku mwalo

Abamu ku bavubi nga bali ku mwalo


Bogere alaze okutya olw’embeera y’ekivundu eno etandise okulwaza abantu ku mwalo guno naddala abaana abaton ga kino kireeseewo obweraliikirivu nti essaawa yonna bandifuna obuzibu obuva ku kivundu kino ekisusse.
Yategezezza nti ennjanja yabeeranga ne yiika 6 ku 12 ez’ekitoogo nga zino zabeeranga zakuyamba kusengejja mazzi gatuuke ku nnyanja nga mayonjo kyokka kati kyasaanyizibwawo dda.
Kansala we Luzira, Peter Muyombya embeera eno agitadde ku bantu abasuula kasasiro ku nnyanja nga n’egimu ku mikutu omusengejjebwa amazzi gano omuli ogwa Nakivubo ne Kinawattaka gyafunda nga kati tegikyasobola kukola bulungi mulimu gwagyo