Abakristu mu ssaza ekkulu ery’e Kampala bali mukunyolwa olw’okufa kwa Maama Nalugwa Veronica Nalumanya Lwanga, ng’ono y’abadde azaala Bwanamukulu w’ekigo ky’e Nsambya, Fr. Joseph Balikuddembe Ssemanda, ne Faaza Joseph Kakooza eyaliko Omuwandiisi omukulu ow’essaza ekkulu ery’e Kampala, kyokka nga kati abeera Nabbingo. Yafa ku Mmande nga February 2, ng’aweza emyaka 98. Y’aziikiddwa mumakaage e Ggoli Mawokota, ku Lwokutaano (nga February 6, 2026).
Aba famire nga bassako ekimuli
Ngatannaziikibwa, w’abaddewo mmisa ey’okwebaza Katonda olw’obulamubwe, eyabadde mu Klezia e Nsambya ku Lw’okuna nga February 5. Missa eno ey’akuluumuludde nnamungi w’omuntu yakulembeddwa Faaza Eustacius Lwemalika akolera mu Ggwandiisizo lya Klezia Katolika mu Ugamda, e Nsambya.
Fr. Lwemalika yeebazizza omugenzi Veronica Lwanga gweyagambye nti abadde mukkiriza ddala, omuzadde era omugunjuzi omulungi, eyafaayo okuyigiriza n’okugunjula abaana be mu by’amagezi, eddiini, n’empisa ennungi ez’obugunjufu, era babiri kubo, okuli Faaza Kakooza ne Faaza Ssemanda nebasobola okufuuka Abasaserdooti.
Rev. Fr. John Bosco Katabaazi eyayogedde kulw’Abasaserdooti abasula mukigo ky’e Nsambya, y’agambye nti okukkiriza kw’omugenzi okukwafu, n’obugunjuzi bwe obw’ettendo, byeyolekera mubukulembeze obulungi obwa Faaza Balikuddembe Ssemanda, obutumbudde okwagala n’enkolagana ennungi ey’Abasaserdooti b’e Nsambya.

okusala cake
Faaza Balikuddembe Ssemanda y’ategeezezza abakungubazi nti nnyina yali ayagala nnyo abantu bonna awatali kusosola, era nga bweyasindikibwa mu Seminario ento e Nswanjere okwegezaamu, yamukalaatira obutakuba Baseminario kibooko, ate bweyafuna Obusaserdooti, namukubiriza obutavuma Bakristu. Y’ategeezezza nti nnyina abadde mukyala wamulembe, ngayagala nnyo okumanya ebifa munsi, era nga yettanira nnyo okusoma amawulire g’olupappula lwa Bukedde.
Lwanga Henry Ssempijja naye y’atenderezza nnyina gweyagambye nt abadde mukyala mubalagavu, omuyonjo, era nga nekumyaka 98 gy’abadde alina, abadde akyamutwala mu saaluni nebamulongoosa enviiri. Y’ategeezezza nti nnyina abadde ayagala nnyo Abaseminario, abanooviisi, Abasaserdooti ne Bannaddiini.
Ssabakristu w’e Nsambya, Evarist Bainomugisha y’agambye nti omugenzi abadde kyakulabirako, era empagi ey’okukkiriza mukigo kuno.
Kinajjukirwa nti omugenzi Veronica Lwanga yaliwo nnyo kumukolo ogwawamu Abakristu gwebaategekera batabani be bwe baali bajaguza jubileewo y’Obusaserdooti. Omukolo Faaza Kakooza kweyajaguliza emyaka 50, ate mutoowe Faaza Ssemanda n’ajaguza emyaka 25 mu Busaserdooti, gw’ali mu kigo e Nsambya nga September 14, 2024