ABAAKOZESA erinnya lya muwala w'omukulembeze we ggwanga okunyaga abantu ku mutimbagano kkooti ebasindise Luzira.
Abavubuka basatu okuli Arafat Isabirye 18 omutuuze we Nampikiri mu munisipaali ye Iganga mu disitulikiti ye Iganga,Zubairi Kakaire 18 omutuuze we Mutambala mu disitulikiti ye Iganga wamu ne Sharif Egesa 18 naye nga ava mu bitundu bye Iganga baasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda road Winnie Nankya Jatiko nabasomera omusango gwokukozesa bubi ebyuma bi kalimagezi okunyaga abantu.
Kigambibwa nti mu June wa 2025 ne January wa 2026 mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo okuli Kampala, Iganga ne mu disitulikiti ye Ibanda baggulawo mutimbagano gwa WhatsApp nga bakozesa en Anna zessimu ezenjawulo bebasaasaanya obubaka mu bantu nga beerimbise mu mannya ga Natasha Karugire Museveni.
Omusango omulala ogwamuguddwako abasatu nabalala abatannakwatibwa baagezaako okuzza omusango bwebakozesa omutimbagano mu bumenyi bwamateeka n'ekigendererwa ekyokunyagako abantu ssente ku bantu abenjawulo.
Oludda oluwabi nga lukulembeddwamu omuwabi wa gavumenti Allan Mucunguzi lwategeezezza kkooti nga okunoonyereza bwekukyagenda mu maaso n'asaba kkooti okubawayo obudde.
Wabula abavubuka bano baategezezza kkooti nga bwebakyali abaana abato era nga basoma kyokka empampula eziboogerako tebaasobodde kuzireeta mu kkooti.
Omulamuzi Nankya bano yabasindise e Luzira okutuusa nga March 2,2026 nalagira abasirikale e Luzira okukebera abaana abo oba nga ddala bakyali bato wamu nebazadde baabwe okuleeta ebbaluwa zobuzaale.