Poliisi e Mukono agambye nti omukozi ku University ya UCU e Mukono Pamela Tumwebaze 46, bamutuze era n'afa nga yakatuusibwa mu ddwaaliro lya Namirembe church of Uganda.
Kigambibwa nti omuzigu eyabadde ayambadde sikaati y'omugenzi, yalabiddwako mu kisenge kya Pamela nga yefulukuta nti n'oluvannyuna n'afuluma ne laptop ye.
Pamela abadde mutuuze mu Guafu West e Seeta mu Ggombolola y'e Ggoma e Mukono era ng'abadde director of Student Affairs ku UCU.
Abatemu, baamuyingiridde mu Kiro ekikeesezza leero mu makaage era nga Maid n'abaana awaka we baatukidde mu kisenge ng'omusajja afuluma okuva mu nnyumba.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Recheal Kawala, agambye nti bali mu muyiggo gw'abatemu era ng'okunoonyereza kuli mu ggiya