Amawulire

Omuvubuka eyatemula abantu ku Hotel ya Dave e Lungujja atutte Poliisi n'abalaga bweyabattamu

Omuvubuka agambibwa okutemula abakozi ba woteeri e Lungujja azziddwaayo  awakolerwa ettemu naalaga poliisi engeri gyeyabattamu.   

Ssempala wakati na bebyokwerinda bamukunguzza bwebaabadde bamukwata
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

Omuvubuka agambibwa okutemula abakozi ba woteeri e Lungujja azziddwaayo  awakolerwa ettemu naalaga poliisi engeri gyeyabattamu.

Allan Ssempala 21, yaakwatiddwa ebitongole byeby’okwerinda okuli amagye, poliisi n’ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID ku lw'okubiri nga February 10, 2026, n’akkiriza nga bweyatemula abantu abo nti wabula naye tamanyi kyamulinnye kukola kikolwa ekyo era leero,  yabalambuzza woteeri okubalaga engeri gyeyakolamu obutemu buno.

Emmotoka ekika kya Harrier Ssempala  gyeyaanyaga mu woteeri ya Dave oluvannyuma lwokutta abakozi baayo

Emmotoka ekika kya Harrier Ssempala gyeyaanyaga mu woteeri ya Dave oluvannyuma lwokutta abakozi baayo

Ku lw’omukaaga lwa wiiki ewedde, abakozi ba woteeri ya Dave and suites mu zooni ya Mbuubi e Lungujja okuli ; maneja Shiva Asasira  Mukyala wa DPC w’e Bugiri n'omukuumi Lawrence Musinguzi, baatirimbulwa mu bukambwe, omutemu bweyabafumita ebiso mu bulago n’omutwe ebyabaggya mu budde.

Oluvannyuma lw'okukwatibwa kwa Ssempala eyasangiddwa n'essimu y’omu ku bagenzi, yaakkiriza emisango n’alaga  poliisi engeri gyeyabatemulamu.

Ssempala ategeezezza poliisi nti, nga tanatta bagenzi, yasooka kujja n’asulako mu woteeri eno okumala wiiki bbiri oluvannyuma lw’okunyagulula mukoddomi we ssente obukadde munaana (8).

Agamba yali ne muganzi we bwebaasulangawo era abakozi ne bamutegeera bulungi, wabula mu wiiki 2 ssente zaali zimuweddeko kuba yazisasaanya nyo, muganzi we n’amuddukako ng’atandise okumwekengera ku wa gy’aggya ssente

ssempala ku ddyo  agambibwa okutemula abakozi ba woteeri e Lungujja

ssempala ku ddyo agambibwa okutemula abakozi ba woteeri e Lungujja

Yava mu woteeri naagenda atandika okweyiiya, ppaka mukwano gwe bweyamusembeza okusula naye e Nansana. Mu kiseera ekyo obwavu bwamuluma n’ajjukira essimu y’omukuumi ku woteeri ya Dave gyeyali yeegombye, kwekufuna ekirowoozo okudda okugibba agifunemu ssente.

Agamba olwatuuka ku woteeri kumakya golw’omukaaga teyalinaamu wadde ekinusu mu nsawo, naye olw’okuba yali yakasulawo wiiki 2 emabega nga bamumanyi bulungi kuba yabasasula nga mugagga, olw’abasaba ekisenge okuwummula tebaakifunamu buzibu wadde yali tasasudde.

Olwamuwa ekisenge yakyankalanya ekitanda naayita asikaali ajje akitereeze, olwayingira ekisenge naakutama alabe ekitanda Ono kwekusibawo oluggi naaggyayo ekiso,  naamulagira (asikaali) okumuwa essimu wabula asikaali n’agaana, amangu ago naamusogga ekiso mu bulago, yaagezaako okwerwanako ng'ono bwayongera okufumita naagwa wansi naamutuga okutuusa bweyafa.

Agamba yaafunamu okutya,  wabula neyeeggalira mu kisenge n’omulambo, neyenaazaako omusaayi mu kinaabiro,  mu kiseera kitono ate maneja Asasira naatandika okunoonya asikaali n’okukuba ku ssimu ye ekyamuwaliriza okugiteeka mu kasirise nga tevuga (silent).

woteeri ya Dave and suite abagenzi gyebaali bakolera

woteeri ya Dave and suite abagenzi gyebaali bakolera

Nga wayise akaseera, yaafuluma woteeri naadduka nga teri amulabye, ate olwatuuka ku kkubo naafunamu ekirowoozo nti maneja Asasira alabika amutegedde era amulabye ng'ayinza okumulonkoma, kwekusalawo akomewo naye amumalirize.

Yaakomawo naagenda mu kiyungu maneja gyeyali, naamusaba amuwe ku ka kyayi nga bwabaza akambe weekali, Asasira aba atandika  okumutegekera kyayi, naamwekiika mumaaso nabaka akambe naye naamufumita, yagezaako okwerwanako naamusinza amaanyi, naye naamutugumbula mu ngeri yeemu gyeyaattamu omukuumi.

Yeeyonjako mangu, naatankuula ebintu gyeyagwira ku kisumuluzo ky’emmotoka eyali esimbye mu lujja lwa woteeri ekika Harrier UBH 633M, naatwala n’amasimu g’omugenzi neyeeggulira  naavuga naafuluma awatali amukuba ku mukono kuba abakozi abaaliwo bokka ku woteeri yali amaze okubatta.

Yaagenda naasisinkana mukwano gwe omu e Mengo naamuvugamu mu mmotoka ng’amugambye nti ya kitaawe, wabula  ono yaamwekengera  n’amubuuza lwaki awunya omusaayi, kwekumuleka, neyeeyongerayo n’emmotoka ppaka e Namungoona mu paakingi gyeyagiteresa.

Ekiyungu gyeyattira maneja nga kibunye omusaayi

Ekiyungu gyeyattira maneja nga kibunye omusaayi

E Namungoona gyebaamukwatidde ku lw'okubiri lwa wiiki eno  bweyabadde agezaako okugitunda, oluvannyuma lwa poliisi okumulondoola ku ssimu y'omugenzi gyeyabba.

“Nange ssimanyi kizibu kyennina okufuna obuvumu obwo, mbadde ssittanga ku muntu bano bebasoose” Ssempala bweyategeezezza poliisi.

Ono akyakuumirwa ku poliisi  e Nateete nga bwebalinda okumwongerayo ku kkooti avunaanibwe emisango egy'enjawulo.