Amawulire

Bannabyabufuzi abaavudde ewa Museveni boogeza maanyi

BANNABYABUFUZI abaasisinkanye Pulezidenti Museveni mu kafubo ak’ekyama baavuddeyo boogeza maanyi olwa ddiiru gye baakutudde erimu omudidi

Pulezidenti Museveni (ataddeko masiki) ne bannabyabufuzi b’oludda oluvuganya be yabadde nabo mu kafubo. Owookusatu ku kkono mu maaso ye Nsibambi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

BANNABYABUFUZI abaasisinkanye Pulezidenti Museveni mu kafubo ak’ekyama baavuddeyo boogeza maanyi olwa ddiiru gye baakutudde erimu omudidi. Ababaka abaakulembeddwaamu Yusuf Nsibambi (Mawokota South/ FDC), Moses Kabuusu (Kyamuswa/ FDC), Latif Ssebaggala, Farouk Ntege n’abalala baasisinkany Museveni ku Lwokusatu mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe. Baategeezezza nti baavuddeyo bawadde Pulezidenti bajeti ya ssente ze beetaaga okukola emirimu era yakkirizza
okuzibawa.
Mu ddiiru gye baakutudde mulimu okukunga eggwanga lyonna live mu kwetemaatemamu, wabeewo enteeseganya ezigendereddwaamu okukwataganya abantu ab’endowooza ez’enjawulo ku lw’obulungi bwa Uganda.
Nsibambi yagambye nti abalowooza nti gwe gusoose okusisinkana Pulezidenti baloota, kuba mu myezi ebiri wakati wa December 2025 ne January 2026, amusisinkanye enfunda ssatu. Baagala wabeerawo okwogerezeganya wakati wa Gavumenti n’abagivuganya kuba Uganda erimu ebizibu bingi ebyetaaga okuteesaako.
Yagambye nti enteeseganya z’ekika kino zibaddewo bulijjo nga waliwo n’ensisinkano eyaliwo nga January 7, 2026 gye yeetabamu, mwalimu omumyuka wa Pulezidenti wa NUP, Lina Zedriga eyajja ne bannamateeka basatu ng’olukiiko walimu n’abakulembeze b’eddiini nga Ssaabalabirizi Stephen Kazimba, Mufti Shaban Mubajje, Bp. Athony Zziwa, Ssaabasumba w’Abasodokisi Jeronymos Muzeeyi, Pastor Samuel Kajoba, Joseph Serwadda, Joshua Lwere, n’abalala.
Essira lyali lya kutema mpenda ku ngeri gye boogerezeganya ku lw’obulungi bw’eggwanga. Nsibambi agamba nti wadde ng’omulimu gujja kwetaagisa okussaamu ssente, tekitegeeza nti ze zibatutteyo kuba ye awezezza emyaka 60 takyanoonya mulimu wabula ky’atayagala, bye byobufuzi bya fitina.
Era okumanya yanyiize, yagambye nti takyaddamu kwesimbawo ku kifo kyonna ng’asigalidde kukola mirimu gya kibiina kye ekya FDC n’okubeerako ne ffamire ye.
Nsibambi bwe yabuuziddwa oba ng’asobola okukola ne Museveni ssinga amuwa omukisa, yagambye nti alina kusooka kwebuuza ku bantu abawerako. Eky’oludda oluvuganya okukola obubi, yakitadde ku NUP gye yagambye nti yava mu byobufuzi ebirimu amakulu n’edda mu by’okuvimba n’okukalubya amatama.
“Kyatukola bubi nti Nobert Mao tetwasooka kumutegeera lwe yasisinkana Pulezidenti ku by’enteeseganya, twakitegeera uvannyuma nti yali mutuufu,”
Nsibambi bw’agamba. Yagambye nti kimuluma okulaba nga Besigye avundira mu  kkomera nga tewali munnabyabufuzi amulambula okuggyako bannamateeka abanoonya okumanyika.
PULEZIDENTI TWAMUWADDE BAJETI YA SSENTE ZE TWETAAGA
Moses Kabuusu (Kyamuswa) yagambye nti pulaani gye balina nnene nga mulimu n’okubawa ssente ezigenda okukola emirimu era ze zikyabasibye okutandika. “Buli mubaka w’oludda oluvuganya eyawanguddwa mu kalulu yankubidde dda essimu ng’ayagala okumuteeka ku lukalala n’obutamuleka ku mulundi oguddakookusisinkana  Pulezidenti.
Ky’olina okumanya buli mubaka eyawanguddwa ali mu kusoberwa…” Kabuusu bwe yagambye.
Bwe yabuuziddwa ku ky’omuwendo gwa ssente ze baasabye, teyagwogedde wabula n’agamba nti gwaweebwayo mukama waabwe Yusuf Nsibambi.
 Kabuusu yalabudde nti ssinga tebaalabuse mangu, Pulezidenti yabadde asobola okubasaanyaawo ne baggwaawo. “Ssinga bajet yaffe bagikolako nga bukyali, lwe
kijja okusinga okuba n’amakulu kuba twagala kusembeza buli mubaka w’oludda oluvuganya naddala abaawanguddwa. Ssente si za kwekubako nfuufu ng’abamu bwe
balowooza” bwe yagambye.
Enteeseganya era bazisuubiramu bannaddiini, abakulembeze b’eddiini, ebibiina by’obufuzi, abantu ssekinnoomu n’abalala nga bwe kinaaba kyetaagisizza kwe kulaba nga Pulezidenti yalaze nti ayagala enteeseganya era mwetegefu okuzeetabamu.
MAO AWAGIDDE NSIBAMBI NE BANNE
Minisita w’ensonga za Ssemateeka, Nobert Mao yagambye nti Uganda eetaaga demokulaasiya abantu bonna gwe bakkaanyizzaako kuba naye bwe yeegatta ku Gavumenti tekyategeeza nti yali avudde mu DP. “Kyansanyusizza okulaba Yusuf
 Nsibambi n’abalala 17 nga basisinkanye Pulezidenti, kuba demokulasiya alimu okwogerezeganya y’ajja okutuyamba okwewala okugwa mu butabanguko” Mao bwe yagambye.
BESIGYE LWE YAYOGERA KU NSIBAMBI
Dr. Kiiza Besigye bwe yali tannasibwa, yagamba buli lw’alaba Nsibambi amujjukiza omusajja gwe baayitanga Kikonyogo Kanoonya gwe baali balwana naye mu nsiko  yokka ne yeewaayo mu mikono gya Gavumenti ya Obote mu 1983 ng’alaba olutalo terulina lugendo. “Oyite Ojok bwe yali agenda okufiira mu nnyonyi, yakanyuga
obupapula wansi we twali nga buliko obubaka obugamba nti mweweeyo nga Bakanoonya, temukyalina kyakukola.
Erinnya lya Kanoonya lye natuuma Nsibambi era lye nassa mu ssimu yange kuba namanya nti mu buli lutalo mubeeramu abeewaayo” Bwe yayogera ku Nsibambi