OLUPAPULA lwo oluganzi olwa Bukedde nga luli wamu ne minisitule y’ebyobulambuzi lukuleetedde ettu ly’otosaanidde jkusubwa. Enteekateeka eno egendereddwaamu okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogw’e 71, n’okutumbula ebyobuwangwa n’ennono kwossa ebyobulambuzi. Omukung’aanya wa Bukedde, Michael Mukasa Ssebbowa yagambye nti ettu ino lirimu emboozi ez’enjawulo okutandika ne wiiki eno, ku bifo n’ensibuko y’Ebika n’Emiziro gy’Abaganda, ebyafaayo,n’ebyobuwangwa ebiriyo.
Mu mboozi zino, Bukedde ng’akolaganira wamu ne minisitule y’ebyobulambuzi, agenda
kukuleetera kalonda ku Bika n’emiziro, ng’ekutwalira ddala mu nsibuko n’ebikwata ku Bika n’emiziro gyonna mu Buganda.
Ssebbowa yagambye nti Bukedde era agenda kukuwa ebikwata ku Bika bino, engeri gye
byatondebwawo, n’enkulaakulana etuukiddwaako, nga bajjajja abakulu b’obusolya bakunnyonnyola akawonvu n’akagga ku bikwata ku Bika bye bakulira, n’enteekateeka ze balina okwongera okubinyweza