POLIISI e Kira, ekutte omusajja agambibwa okubaako ky'amanyi ku kubuzibwawo kw'omwana ow'emyaka 5.
Spire Sentongo amanyiddwa nga Rasta, y'akuumirwa ku poliisi e Kira , kubigambibwa nti aliko ky'amanyi ku kuwambibwa ku omwana Musimenta Blessing 5 .
Blessing, muwala wa Molly Turyashemerwa abatuuze e Kireka B zooni e Namugongo mu Kira municipality nga yali yabuzibwawo nga Feb 8.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti omwana bamuzudde kuva ku kkanisa ya Faith Healing Church eya Paster Emannuel Muwanguzi mu Acholi Quarters e Kasokoso.
Ayongeddeko nti okubuuliriza ku ngeri gyeyatuusiddwayo n'ekigendererwa, kugenda mu maaso.