Amawulire

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okwetanira okulambula eby'obulambuzi ebibali okumpi

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okwetanira okulambula eby'obulambuzi ebibali okumpi ng'erimu ku makkubo  g'okutumbula eby'obulambuzi ebyawano.

Wano nga Amb. Malango nga yetegereza ebifananyi bya Bassekabaka
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okwettanira okulambula eby'obulambuzi ebibali okumpi ng'erimu ku makubo  g'okutumbula eby'obulambuzi ebya wano. 

Okusaba kuno kukoleddwa Akulira ekitongole ky'ebyobulambuzi mu Buganda, Najib Nsubuga oluvanyuma lw'okukyaaza Amb. Rosa Malango ng'ono Mubaka wa Pulezidenti wa Uganda ow'enjawulo avunanyizibwa ku kutumbula eby'obulambuzi bya Uganda eyakyadde e Mmengo okulambula  ku by'obulambuzi ebikulu mu Buganda akawungeezi k'eggulo.

Omukungu Najib Nsubuga ng'akwasa Amb. Rosa Ekitabo omuli EBY'OBULAMBUZI bya Buganda . Ku kkono ye Mathew Nabwiso

Omukungu Najib Nsubuga ng'akwasa Amb. Rosa Ekitabo omuli EBY'OBULAMBUZI bya Buganda . Ku kkono ye Mathew Nabwiso

Oluvanyuma lw'okulambula kw'Omukungu Ono, Nsubuga agambye nti bagenda kulaba nga babangaawo enkwatagana  n'Omukungu Ono saako abazanyi ba firimu aba Nabwiso Films okunyumya ebyafaayo bya Buganda mu firimu nga batandikira ku firimu ekwata ku bajjulizi ba Uganda.

Matthew Nabwiso owa Nabwiso Films alaze essanyu olw'ebyobulambuzi ebikulu ebisangibwa mu Bwakabaka bwa Buganda n'agamba nti alindiridde enkolagana eno eteekebwe mu nkola, eby'obulambuzi bitandike okunyumizibwa mu firimu bannansi benyinni okusinga okunyumizibwa abava ebweru nga kino kyakwongera okutumbula Obulambuzi bwa Uganda.

Amazina g'ebyobulambuzi

Amazina g'ebyobulambuzi

Ye Amb. Malango oluvanyuma lw'okulambuzibwa olubiri e Mmengo, Ekitebe ky'Obwakabaka e Bulange-Mmengo, etterekero ly'ebitabo, ekifo ky'ebifananyi ebisiige, amasiro g'e Kasubi n'ebirala agambye nti waakulaba nga gavumenti ewagira kaweefube w'okukwata firimu z'ebyobulambuzi n'ebyafaayo bya Uganda nga batandikira kweebyo ebiri mu Bwakabaka bwa Buganda. 
Nsubuga agambye ekitongole kigenda kwe keneenya ekiteeso kya Amb. Malango okulaba ng'enteekateeka eno etandika mu bwangu nga bweyetaagibwa