ABANTU 27 be bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi e Buwaate mu munisipaali y'e Kira mu Wakiso.
Ekikwekweto kino, kiyindidde mu zooni ya Katuli mu muluka gw'e Bulindo era nga bonna, batwaliddwa ku poliisi e Kira division, okubasunsulamu.
Kidiridde okwemulugunya okuva mu batuuze ku bubbi bw'okuteega abantu n'okumenya amayumba ne babba, obubadde bususse mu kitundu ekyo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala , Luke Oweyesyigire, agambye nti baliko ebimu ku bintu bye babakutte nabo, omuli enjaga n'ebigambibwa okuba ebibbe.