Amawulire

Omuze gw'okubba ebigezo gutadde abakulira ebyenjigiriza mu kattu e Kayunga

Abakulira eby’enjigiriza e Kayunga basobeddwa olw’abakulira amasomero ga gavumenti abalemedde ku muze gw’okubba ebigezo.   

Dr Bbaale ng'ayogera eri abasomesa
By: Saul Wokulira, Journalists @New Vision

Abakulira eby’enjigiriza e Kayunga basobeddwa olw’abakulira amasomero ga gavumenti abalemedde ku muze gw’okubba ebigezo.

Akulira eby’enjigiriza (DEO) Dr. Daniel Bubaale atuuzizza abakulira amassomero ga gavumenti n’abagugumbula nti yetamiddwa okubawolelezanga mu kitongole kya UNEB nga kikutte ebigezo by’abayizi olw’okukoppa.

Kati emyaka gyeddiring’anye nga UNEB ekwata n’okusazaamu ebigezo by’abayizi ab’amassomero ga pulayimale e Kayunga era mu bigezo ebyakafulumizibwa omwaka guno waliwo eby’abayizi UNEB 39 tebyakomyewo.

“Bannange nkooye okubawolereza buli mwaka mu UNEB olw’okukoppa ebigezo, ssimanyi kiki ekibatuusa ku kino kubanga amassomero gemwagala gayitimukire mu bubbi ssi gamwe era gabaddewo emyaka mingi, mundeke nwane n’ebizibu byange kubanga nabyo bingi,” Dr. Bubaale bweyayombye.

Mu kiseera kino ekitongole kya State house ekinoonyereza ku bukenuzi kimaze ebbanga nga kinoonyereza ku vvulugu eyetobese mu kitongole ky’ebyenjigiriza e Kayunga omuli okulya ku basomesa ne Baheedimasita ssente okubawa amassomero gebayita amasava wamu n’okubikkirira abo abakozesa obubi ssente za bonna basome olwo ne bakanda abazadde ssente, abaana ne batuuka n’okugobebwa ku massomero olw’obutasasula bisale mu massomero aga gavumenti.

Waliwo n’enkola eya Bannanyini massomero ag’obwannanyini abasunsula abayizi abanafu ne babatwala ne babawandiisiza mu massomero aga gavumenti okutuula PLE kyokka nga bamaze okujjako abazadde ssente ez’okwewandiisa ate ne gavumenti n’eddamu n’abasasulira ssente z’ebigezo nga bweri enkola ku massomero gaayo aga bonna basome.

Kati Dr. Bubaale agambye nti ebizibu ebyo n’ebirala bimutuuza matitiiri n’olwekyo tajja kugattako ate kwetikka musaalaba gwa Baheedimasita abanoonya bampaane nga babba ebigezo balowoozese abantu nti basomesa nnyo.

“Nze nnina ddiguli ssatu era abaazintikkira bandaba nga nkuguse naye bannange munnemesa okugenda mu maaso kubanga bye mukola mundabisa nga atasobole,” Dr. Bubaale bweyagambye.