KOOKOLO mu baana abato kumu ku kusoomoozebwa mu by’obulamu ffamire nnyingi kwe zisanga, newankubadde ono mutono ddala bw’ogeraageranya n’oyo akwata abantu abakulu.
Eunice Atim, anyumya nti: Mu mwaka gwa 2023 omwana wange yazuulibwamu kookolo w’ensigo.
Mu kusooka nnalaba lubuto lwa mwana kugejja naye nga sikirowozangako nti, kisobola okubeera ekizimba munda eyo.
Omwana yafunanga omusujja olutatadde, wabula bwe nagendanga mu ddwaaliro nga bang’amba omwana alina yinfekisoni.
Olubuto lweyongera okuzimba ne lubeera nga olw’omukazi w’olubuto. Nalowoozanga nti, omwana alidde nnyo n’akkuta kubanga mu kiseera ekyo yalina apetayiti nnene ate n’engeri gye yalina omubiri omunene kyasooka ne kimbuzaabuza.
Engeri gyendi omusawo, nagezaako okukebera omwana wange mu lubuto, wabula ng’agamba nti, talina bulumi bwonna bw’awulira. Olw’ekizimba okukula okuva munda kyatandika okulabika ebweru era kino kyandaga nti, waliwo ekitali kituufu ne mmuddusa mu ddwaaliro.
Mu kiseera ekyo, omwana yalina emyaka 5, era bwe twatuuka mu ddwaaliro e Mulago sikaani yalaga nti, ensigo yaliko obuzibu.
Embeera y’obulwadde bwe nagigamba baze teyasooka kukikkiriza era naye yasalawo amutwale mu ddwaaliro akakase.
Nga maama mu kiseera ekyo nabeeranga mu maziga olw’embeera mutabani wange gye yalimu.
Bwe baddayo mu sikaani, abakugu baakakasa nti, yalina kookolo w’ensigo era ne tutandika obujjanjabi e Mulago.
Obujjanjabi bwakomekkerezebwa mu 2024 era abakugu ne batandika kwetegereza mbeera omwana gy’alimu.
Mu kiseera kino twaweza emyaka ebiri ng’omwana yava ku ddagala, nga kati ali mu kwetegerezebwa.
Abasawo batulung’amya ku bye tulina okukola okukuuma omwana nga mulamu okuli; ebyendya naddala omunnyo kubanga ensigo ye emu y’ekola obulungi ng’endala ekyali nnafu. Bwatyo Atim bw’annyonnyola.
OKUJJA EKIKEEREZI MU DDWAALIRO KUSSE ABAANA BANGI
Dr. Agatha Mukama, omusawo ajjanjaba abaana abatawaanyizibwa endwadde z’omusaayi ne kookolo ku Mulago National Referral Hospital agamba nti, okusinziira ku kitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organisation (WHO), buli mwaka mu nsi yonna abaana 429,000 abali wakati w’emyaka 0 ne 19 bakeberebwa ne basangibwa ne kookolo.
Wabula mu Uganda abaana abali wakati wa 3,000 ne 3,500 mu myaka0 ne 19 nabo bwe bakeberebwa basangibwa ne kookolo.
Agamba nti, abaana 7 ku baana 10 abalina kookolo mu Uganda balemererwa okufuna obujjanjabi mu malwaliro amanene olw’okusosolebwa n’okujja ekikeerezi mu malwaliro.
Agamba nti, enteekateeka y’okujjanjaba kookolo n’endwadde z’omusaayi mu baana eri wansi w’ekitongole kya Joint Clinical Research Centre (JCRC) ekikwatagana n’ekitongole ekirala ekya Global Hope Uganda ne Mulago National Referral Hospital abajjanjabye abaana abalina kookolo abasukka mu 1,800 okuva mu mwaka gwa 2019 era abawadde obugabirizi obw’enjawulo eri ffamire empitirivu.
Okumanyisa abantu ku kookolo mu baana mu nsi yonna n’okuyimirira wamu n’abo abayita mu kusoomoozebwa kuno kubeerawo nga February 15 buli mwaka, ye Ssande eno.
KIKI EKIREETA KOOKOLO MU BAANA
Dr. Mukama agamba nti, ng’oggyeeko kookolo mu bantu abakulu ava ku mbeera z’obulamu ezitali zimu n’embeera ebeetoolodde mwe bawangaalira, kookolo asinga mu baana tamanyiddwa bulungi nsonga kw’ava.
Bannassaayansi bakkiriza nti, okukyukakyuka kw’obutonde munda mu busimu bw’omubiri obuba bukula y’ensonga esinga okuvaako kookolo mu baana.
Yinfekisoni ezimu mu ffamire n’obulwadde bwa siriimu.
Embeera abaana ze bawangaaliramu era zino zeetegerezeddwa bulungi n’okunoonyereza kukoleddwa okutunuulira eddagala erifuuyirwa ebirime eriyinza nalyo okuvaako kookolo ono
Ebisobola okukolebwa okwewala kookolo mu baana
Dr. Mukama agamba nti, kookolo asinga mu baana tasobola kwewalibwa, wabula kisoboka okukendeeza emikisa gy’okuleeta kookolo ono, omuli; okwewala we bafuuyira ssigala, amasannyalaze agava mu bintu eby’enjawulo n’ebiragalalagala eby’obulabe.
Okuyonsa omwana ekimala n’okumuliisa emmere erimu ebirungo mu buto bwe okukendeeza emikisa gy’okufuna kookolo.
Omwana asobola okufuna ebika bya kookolo ebimu nga tannazaalibwa, okugeza ow’omu musaayi, amaaso olw’enkyukakyuka z’obusimu bw’omubiri ng’akyakula mu lubuto lwa nnyina.
Era tewali ngeri yonna yeesigika gy’osobola kwewalamu mbeera eno, wabula okugenda amangu mu ddwaaliro ng’omukyala afunye olubuto okumwekebejja n‘okubudaabuda ffamire ezimanyiddwa okubeera mu katyabaga k’okufuna kookolo.
Okubagema yinfekisoni ezibalumba buli kiseera.
Omuwendo gw’abaana abawona kookolo ono gukyali wansi; abaana wakati wa 20 ne 30 ku 100 bafa ng’obuzibu buva ku kutuuka kikeerezi mu ddwaaliro.
Okufuna okusoomoozebwa nga batandise okujjanjabibwa. Abalala balemererwa okukozesa eddagala mu butuufu nga bwe balagirwa abasawo.
Ebika bya kookolo ebitawaanya abaana
KOOKOLO w’omusaayi asinga okutawaanya abaana mu Uganda, ow’ensigo, ow’obwongo, ow’ensanjabavu n’omulala.
l Obubonero abazadde bwe basobola okulabirako kookolo mu baana, Dr. Mukama agamba nti, ekisooka kwe kukeberebwa mu bwangu kubanga wano omwana ajjanjabibwa n’awona.
l Okuzimbazimba okw’enjawulo mu bitundu by’omubiri ebitali bimu awatali nsonga okugeza; obulago, olubuto, amagulu, ekifuba n’awalala.
l Omusujja ogutawona ne yinfekisoni etawonyezebwa ddagala nga omwana ne bw’omujjanjaba otya esigala ekomawo.
l Okufuna ebinuubule ebitali bya bulijjo.
l Okuvaamu omusaayi
l Okukogga
l Okuwulira obukoowu buli kadde.
l Obulumi mu magumba n’ennyingo.
l Omutwe oguluma n’enkyukakyuka mu ndaba y’ebintu kubanga obubonero obusinga bumanyi okwefaananyiriza endwadde eza bulijjo ezitera okutawaanya abaana ng’omusujja n’okuggwaamu omusaayi