Amawulire

Dr. Besigye ne Lutale bataddeyo omusango oguwakanya kkooti y’amagye

DOKITA KIIZA Besigye ne Hajj Obeid Lutale abali mu kkomera e Luzira beekubidde enduulu mu kkooti etaputa Ssemateeka nga baagala eyimirize bannamagye okutandika okuwozesa abantu baabulijjo kubanga kimenya Ssemateeka.

Lukwago (wakati) ng’ateekayo omusango ku kkooti etaputa Ssemateeka ku nsonga za Besigye.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

DOKITA KIIZA Besigye ne Hajj Obeid Lutale abali mu kkomera e Luzira beekubidde enduulu mu kkooti etaputa Ssemateeka nga baagala eyimirize bannamagye okutandika okuwozesa abantu baabulijjo kubanga kimenya Ssemateeka.
Kkooti y’amagye esuubirwa okutandika leero okuddamu okuwozesa emisango. Nga January 31, 2025, kkooti ey’oku ntikko yayimiriza kkooti y’amagye okuwozesa emisango gy’abantu baabulijjo era ffayiro z’emisango gyonna egyabatali baserikale ne balagira zitwalibwe mu kkooti eza bulijjo.
Eggulo bannamateeka ba Dr. Bersigye ne Obeid Lutale abaakulembeddwa Loodi Mmeeya Erias Lukwago baataddeyo omusango nga bagamba nti kkooti emenya Ssemateeka kubanga ensonga zennyini ezaagiggyisaawo ate zazzibwawo.
Lukwago eyakulembeddemu bannamateeka yagambye nti, beesigamye ku nsonga 12 ze baatadde mu kiwandiiko kye baataddeyo mu kkooti. Baagambye nti, etteeka lya UPDF Ammendment Act 2025, Palamenti yaliyisa mu kupapa ate n’abooludda oluvuganya tebaaweebwa mukisa kuliteesaako bulungi.
Balaze nti Palamenti okuziimuula ensalawo ya kkooti ensukkulumu n’eddamu n’ekola etteeka erikontana n’ensalawo ya kkooti eno, kimenya mateeka. Lukwago awadde ensonga nti bannamagye abalondebwa omuduumizi w’amagye okukulira kkooti eno, kiba kitegeeza nti agenda kukulembeza biragiro bya kamanda eyamulonda wabula si Ssemateeka nga bwe kyandibadde. Yagambye nti, kkooti etuulamu balamuzi abalondebwa Ssaabalamuzi w’eggwanga.
Agattako nti, obuwaayiro nnamba 30, 35, 36,38 ne 45 mu tteeka erifuga amagye, bwali buyimiriziddwa kkooti ensukkulumu nga kati bukontana ne Ssemateeka. N’agamba nti, kkooti ya bannamagye tesobola kukola mirimu nga yeetengeredde wadde okugoberera enkola za kkooti eziyitibwamu okuwozesa abantu ba bulijjo kubanga yo erina enkola yaayo esaana abaserikale bokka.
Yamalirizza ng’agamba nti, obuyinza obwaweereddwa kkooti ya bannamagye bungi nnyo kuba tegambwako era ssinga bakkiriza abantu baabulijjo okutwalibwayo, kuno kuba kityoboola ddembe ly’obuntu.