Ekikangabwa kigudde e Lwengo, abennyumba emu bana, bwe bafiiridde mu Kabenje nga bagenda mu nnimiro.
AKabenje kagudde ku kyalo Kannyogoga okumpi ne prison ku luguudo olugenda ew'omugenzi Andrew Flex Kaweesi e Kyazanga.
Abooluganda bonna, babadde batambulira ku pikipiki emu tuleera n'ebasaabala n'ebatta lumu bonna.
Abafudde kuliko abadde agivuga Rogers Magembe 30, Scovia Nnadawula 54 , Amos Banama 16 ne Javira Talemwa 17 nga batuuze b'e Kibimba e Kyazanga Rural e Lwengo.
Babadde batambulira ku pikipiki nnamba UDT 812X nga bagenda kunuula kasooli mu nnimiro, kwe kuyingira ekkubo, tuleera nnamba KDL 781T /ZH 1871 ebadde eva e Masaka okudda e Mbarara n'ebatta.
Omwogezi wa poliisi e Masaka, Twaha Kasirye, agambye nti dereeva wa lukululana Munnakenya James Mwayi Bamuburuka, akwatiddwa ng'okubuuliriza kukolebwa.