MMENGO ekoze omukago n’ekitongole kya NEMA okutaasa obutonde bw’ensi.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ku mukolo ogwabadde e Bulange yalaze nga essiga lya Buganda ery’ebika bwe tunaaliragajjalira tujja kutuuka okutyoboola obutonde bw’ensi.
Yayongeddeko nti Obutonde bw’ensi butukwatako butereevu wano mu Buganda kubanga Obwakabaka buzimbiddwa ku bika ate ng’ebika ebisinga bisangibwa mu bibira, mu nnyanja, entobazzi ne ku ttale.
Yasabye buli omu yeenyigire mu kaweefube w’okutaasa Obutonde olw’obulungi bw’ebika byaffe.
Mu ngeri y’emu, Katikkiro Mayiga yatongozza kampeyini etuumiddwa Empewo bwe bulamu eruubirira okukunga abantu okubeera mu bifo ebirimu empewo ennamu.
Enteekateeka eno ey’empewo ennungi, Obwakabaka bwakugitambuza ne Yunivasite y’e Wisconsin ng’eno yawaddeyo ebyuma ebiteekebwa mu bifo ne bipima obulungi n’obubi bw’empewo.
Endagaano y’omukago guno eteereddwaako omukono Minisita wa Bulungibwansi, Obutonde bwensi, amazzi n’ekikula ky’abantu, Hajjat Mariam Nasejje Mayanja ku lw’Obwakabaka ate ne Dr. Barirega Akankwasa ku lw’ekitongole kya NEMA.
Dr. Akankwasa akwasizza Obwakabaka ebiwandiiko ebyateereddwa mu lulimi Oluganda ebikwata ku kutumbula obutonde bw’ensi okuli n’etteeka erigobererwa mu kutumbula obutonde bw’ensi