Amawulire

Abaserikale abakuuma ewa Bobi e Magere bakutte looya wa NUP

ABASERIKALE abaagumba mu maka ga Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu bakutte munnamateeka eyabadde agenze mu maka ge e Magere okumulaba.

Bannamateeka ba NUP wamu ne Nambeshe nga beegeyaamu oluvannyuma lw’okulemesebwa okutuuka mu maka ga Kyagulanyi eyeegattiddwaako Eron Kizza.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABASERIKALE abaagumba mu maka ga Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu bakutte munnamateeka eyabadde agenze mu maka ge e Magere okumulaba.
Kakulu Tumusiime okukwatibwa yabadde ne bannamateeka n'abakulembeze ba NUP abaakuliddwaamu omumyuka wa Pulezidenti w'ekibiina ekyo atwala Obuvanjuba John Baptist Nambeshe.
Abalala kwabaddeko Bannamateeka : George Musisi, Eron Kiiza, Haruna Nsibuka, Jonathan Erotu, Kato Tumusiime, n'ababaka Muwada Nkunyingi (Kyadondo East) n'omubaka omulonde ow’e Mukono Sheilah Amaniyo.
Okukwatibwa, Tumusiime ng’agezaako okukwasa abaserikale ebiwandiiko ebigambibwa okuba ebya kkooti ebiwa balooya olukusa okutuuka ku Kyagulanyi.
Nambeshe ne balooya baatuuse e Magere ku ssaawa nga 5:00 ez'oku makya, wabula abaserikale tebaabaganyizza kusembera ku ggeeti ya Kyagulanyi ne babalagira okwamuka ekifo era mu kavuvung’ano ako Tumusiime we baamukwatidde.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusooke yategeezezza Bukedde nti, yabadde tannamanya ku bya kukwatibwa kwa looya.
Nambeshe yategeezezza bannamawulire nti, baakusigala nga balwanirira abali mu maka ga Kyagulanyi wamu n'abasibe bonna okuli ne Kakulu akwatiddwa.