Amawulire

Akabenje kasse abooluganda 3 nga bava okuziika mukulu waabwe Dokita

ABOOLUGANDA basatu abaafiiride mu kabenje e Kammengo baziikiddwa wakati mu miranga n'ebiwoobe

Akabenje kasse abooluganda 3 nga bava okuziika mukulu waabwe Dokita
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABOOLUGANDA basatu abaafiiride mu kabenje e Kammengo baziikiddwa wakati mu miranga n'ebiwoobe
Frank Sseguya 32, Nsamba Stephen 26, ne Bukenya Vicent 30, baaziikiddwa e Kabonera mu muluka gw'e Kiziba mu ggombolola ya Kimanya -Kabonera mu Masaka City.
Baafiiridde mu kabenje akaagudde e Mitala Maria, bwe baabadde bava okuziika mukulu waabwe, Bosco Sseguya. Wakati mu kudda e Kampala, mu bitundu by'e Mitala Maria, lukululana we yabasanze n'ebagoyaagoya.
Kitaabwe, Matovu John Bosco ne nnyaabwe, Nakalema Florence baakaabizza abakungubazi bwe battottodde engeri abaana baabwe gye baabasiibudde mu kuziika mukulu waabwe ate ne babababikira mu kaseera mpa we kaaga! Abatuuze nga bakulembeddwa Ssaalongo Joseph Ssentongo, baagambye nti, ekigudde ku kyalo kyabwe baakulwawo nga bakinyumyako kuba kibadde tekibatuukangako.
Ssaalongo Lukwago Yakobo abadde akozesa abaana bano mu Kampala, agambye nti yabadde nabo mu kuziika muganda waabwe era n'abategeeza nti ye akomyewo e Kampala kyokka yabadde tannaba na kutuuka, ne babamubikira.
Ssentebe w’ekyalo kino, Kabonera Lukyamuzi Lawrence yagambye nti, baasobeddwa n’asaba Gavumenti yeekenneenye enguudo kuba ezimu zikaddiye ate nga nfunda.
Mu kusabira abagenzi okwakulembeddwa omusomesa w'ekisomesa ky'e Kiziba mu kigo ky'e Kabwoko, Edward Ntunda n'omumyuka we Nakyejwe Kotiridda, baasaasidde aba ffamire n'ekyalo okutwaliza awamu, ne basaba abakkiriza okwetegekera okufa kuba kutuukawo essaawa yonna.
Abagenzi baagalamiziddwa mu nnyumba yaabwe ey’olubeerera ku kyalo Bukeeri. Baaziikiddwa mu ntaana emu.