Amawulire

Abakulira eby'obulamu e Masaka beeraliikiridde olw'omuwendo gw'abawala abaggyamu embuto

ABAKULIRA ebyobulamu mu disitulikiti y'e Masaka basattira olw'omuwendo gw'abakyala n'abawala abajjamu embutto ogweyongera okulinnya buli olukya.

Dr Faith Nakiyimba ng'ayogera eri bannamawulire
By: John Bosco Sseruwu, Journalists @New Vision
ABAKULIRA ebyobulamu mu disitulikiti y'e Masaka basattira olw'omuwendo gw'abakyala n'abawala abajjamu embutto ogweyongera okulinnya buli olukya.
 
Dr Faith Nakiyimba atwala ebyobulamu mu kitundu kino bwe yabadde ku Court Lane Hotel mu nsisinkano n'abaamawulire abasaka ag'ebyobulamu wansi w'ekitongole ki Health Journalists Network-Uganda yategeezza nti omwaka oguwedde 2025 baafunye abantu abavuddemu embuto abasoba mu 91
 
Yagambye nti ekyennyamiza bano kuliko abawala abali wakati w'emyaka 15 ne 19 abaakoze ebitundu ebisukka mu kimu kya kusatu.
 
Yanyonnyodde nti abawala bano bataano ku bbo baafa,33 baasobola okufuna obujanjabi mu budde ne basimattuka nti wadde ng'embeera eno yasigadde yeyongera ne gyebuli kati.
 
Yayongeddeko nti ebitundu 17 ku 100 eby'embuto ezavaamu kyava ku butabanguko mu maka nti ate mbeera y'obwavu n'obutamanya ebisukiridde naddala mu bitundu by'ebyalo nabyo nebyongereza okwo.
 
Omusawo Dympuna Nagawa akulira Bukeeri Health Centre III mu ggombolola y'e Buwunga yagambye nti abakyala n'abawala abato bangi bakyeyunira okukozesa eddagala ly'ekinnansi okujjamu embuto n'okwejjanjaba nga zivuddemu ky'agamba nti kitadde bangi mu mattigga ekivirako n'abamu okufa.
 
Yakubiriza abaami okwewala obutabanguko mu maka n'okubererangawo bakyala baabwe naddala mu kiseera nga bali mbuto nti okusobola okufuna obujjanjabi obw'ekikugu mu malwaliro agabali okumpi.
 
Baagumizza nti baatandise ne kawefube w'okwongera okumanyisa abayizi naddala abawala mu masomero akabi akali mu bikolwa by'ekikaba nga tebanetuuka nti ekibavirako okufuna embuto zebatetegekedde ne besanga nga bawaliriziddwa okuzigyamu ne bafuna obuzibu.
 
Wabula Dr.Nakiyimba yagambye nti balina okusoomozebwa kw'ensimbi n'ebikozesebwa ebitamala n'asaba bekikwatako nti bongere amaanyi mu kuwagira kawefube ono.