Amawulire

Majembere akoledde abawagizi ba Nrm SACCO  e Lubaga nassaamu entandikwa ya Bukadde 200

SSENTEBE wa NRM  e Lubaga era omuwabuzi wa pulezidenti omukulu  ku nsonga za Baganda, Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, agguddewo SACCO eri bannaLubaga ne bannayuganda okweggya  mu bwavu. 

Majembere ng'alaga cceeke ya Sacco
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

SSENTEBE wa NRM  e Lubaga era omuwabuzi wa pulezidenti omukulu  ku nsonga za Baganda, Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, agguddewo SACCO eri bannaLubaga ne bannayuganda okweggya  mu bwavu. 

Majembere ng'alaga cceeke ya SACCO

Majembere ng'alaga cceeke ya SACCO


Ekibiina ky’obwegassi kino Majambere agguddewo ofiisi zaakyo ku Kabuusu okuliraana ekifo kya Monalisa,   nga y’omu ku bayima baakyo nti,  naye agigguliddewo bannayuganda bonna  wadde ng’ekitebe kiri Lubaga gyaweerereza,  nga kigendereddwaamu okusitula ebyenfuna bya bannayuganda aba wansi okweggya mu bwavu, mulimu okutereka n’okwewola  ku magoba amatono enyo.
Ekibiina kino Majambere akitaddemu ssente obukadde 200 okukitandika zaagambye nti aziwaddeyo ye ng’omuntu, okwebaza banna Lubaga, ba nnakampala ne bannayuganda bonna okutwalizaawamu olw’obuwagizi obungi bwebaawa pulezidenti Museveni naawangulira waggulu mu kalulu akaakaggwa.
Agamba nti ,alabye ng’okukola akabaga abasalire ente balye n’okunywa nga tekijja kubaganyula, kwekusalawo abateerewo ekibiina kino ekituumiddwa “Step Foward”, abantu baasobole okukingira beekulaakulanye ate nga waakwongera okubasakira ssente z’okwekulaakulanya ziyingire mu kibiina.

Majembere ng'ayogera mu kutongoza SACCO

Majembere ng'ayogera mu kutongoza SACCO


Awabudde abantu  okwettanira enkola y’okukolera awamu mu bwegassi, kyagambye nti kyanguya enkulaakulana, kuba ky’otasobola kukola wekka ate musobola okukikolera awamu n’okituukako.
Agamba nti yavaayo n’asaka SACCO eno ejje mu Lubaga, nti wabula  ssi yiye ng’omuntu, ya bantu,  wabula ayagala okulaba ng’abantu beefaako okweggya mu bwavu nga bagiyingira batereke n’okwewola okukulaakulanya bizinensi zaabwe n’okuzitandika,  baasitule ebyenfuna basobole okubeezaawo obulamu obulungi. Ssente za SACCO eno baakuzeewolera ku  magoba  ga bitundu 8 ku 100 ezisoboka eri buli omu.
Naasaba banna Lubaga kino obutakifuula kya byabufuzi, bayingire awatali kusosola mu bibiina byabufuzi, bajje bagyeyambise  okwekulaakulanya okugenda mumaaso.
Agamba nti,  pulezidneti Museveni yabayigirizza ekigambo “Okuceenuula”, ekitegeeza nti “kwata ku munno omuyambe omuyimuse”, kuba baagala embeera embi eve mu bantubakomye okukolerera mmere ya leero, beetegekere bulungi obulamu bw’omumaaso.

Abazadde nga bawandiisa abaana baabwe okuyambibwako okusoma

Abazadde nga bawandiisa abaana baabwe okuyambibwako okusoma


Yeebazizza pulezidenti Museveni, General Salim Saleh n’omuwanika wa NRM mu ggwanga Nekesa Oundo,  baagambye nti bakoze kinene okubazzaamu amaanyi, nabo  okukwata ku bantu ba wansi.
Agamba nti, mu kiseera kitono mumaaso ekibiina kino kigenda kutongozebw amu butongole omukolo ogunabaako abakulu mu ggwanga nabo abausubirwa okwongera okukwatairako abantu mu sacco eno.

Akabonero akalaga erinnya lya SACCO

Akabonero akalaga erinnya lya SACCO


Abatuuze b’e Lubaga beebazizza Majambere olwa SACCO eno, nebamusaba okukyongera mumaaso ayongeremu amaanyi okubasakira beeggye mu bwavu.
 Majambere era aliko ne bassale zaawaddeyo eri abazadde ng’akolagana n’amasomero ag’enjawulo ziyambeko ku baana okusoma, agamba buli lunaku afuna abantu abatakka wansi wa 20 nga bamusaba okubakwatirako mu kusoma kw’abaamna baabwe nga ye nsonga asazeewo okubasakira ne bbasale