Amawulire

Poliisi e Matugga eyigga omusajja agambibwa okukuba n'atta omulenzi ow'emyeka 18

Poliisi e Matugga eyigga omusajja agambibwa okukuba n'atta omulenzi ow'emyeka 18 oluvannyuma lw'okumusanga ne muwalawe ow'emyaka 14 mu kazigo k'abadde apangisa. 

Poliisi e Matugga eyigga omusajja agambibwa okukuba n'atta omulenzi ow'emyeka 18
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi e Matugga eyigga omusajja agambibwa okukuba n'atta omulenzi ow'emyeka 18 oluvannyuma lw'okumusanga ne muwalawe ow'emyaka 14 mu kazigo k'abadde apangisa. 

Bibadde ku Mabanda e Matugga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Bombo, omusajja ategeerekeseeko erya Habert, bwasse Martine Bukenya 18.

Bukenya, abadde muyizi ku ssomero lya Hill side SS e Matugga era ng'abeera Kirinnyabigo mu Kawanda e Nabweru mu Wakiso. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti ku Valentine essaawa nga Ttaano ez'ekiro, Habert, yasanze Bukenya n'omuwala mu kazigo ke ku Mabanda Cell mu Ggombe Division mu Nansana municipality n'amukuba n'amutta. 

Agasseeko nti oluvannyuma yadduse awaka ne family ye yonna era nga batandise omuyiggo yonna gyali avunaanibwe