Amawulire

Obubinja bw’ababbi abamenya emikono butaamye

OBUBIBINJA bw’ababbi obumenya abantu emikono ne bubanyagulula busitudde enkundi mu Kampala, Wakiso n'e Mukono.

ku baayooleddwa mu bikwekweto.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OBUBIBINJA bw’ababbi obumenya abantu emikono ne bubanyagulula busitudde enkundi mu Kampala, Wakiso n'e Mukono.
Omu ku baalozezza ku bulabe bw'obubinja buno, Richard Batabane amanyiddwa nga Taata Mubongole ow’oku Bayitaababiri ku lw’e Ntebe, alojja abavubuka bwe baamunyodde emikono okukkakkana nga bagimenye ne bamubba obutamulekera kantu. Okugwa mu kabinja kano, Batabane yabadde ava ku mulimu, g’atuuse awaka alinze bamuggulire, agavubuka ga kawuula ne gajja nga gali mu kibinja, ne  gamugwakoekiyiifuyiifu ne baagala okumunyagako essimu ze, ne ssente gye byaggweeredde nga bamumenye omukono n’okugulu.
Yagambye nti, abavubuka abatawaanya ekitundu kino, basiiba mu kitundu ky’e Kawafu nga banywa enjaga n’okuzannya zzaala, ekiro ne balumba abeekolera babanyageko
ebyabwe.
Ate omuwala omulala nga ku Tiktok akozesa erinnya lya Lhyton, yakubiddwa bubi nnyo wiiki ewedde e Nabweru Lugoba, ne bamwasaayasa emimwa era amannyo baamulekedde ganyegenya! Agamba nti, yalaba abavubuka bataano nga bali ku pikipiki bakutte ebijambiya n’ebissi ebirala, nga bamugoberera buli wadda, kwe kuyimirira mu kifo awali abantu abangi n’amadduuka, basobole okumuvaako.
Agattako nti, zaabadde ssaawa ssatu ez’ekiro, nga si kyangu okulowooza nti ababbi basobola okukubba ng’abantu bakyatambula. Wabula bwe yayimiridde nabo ne bayimirira, ne bamusanga we yabadde ayimiridde ne bamukuba n’agwa era n’awunga. Yagenze okudda engulu ng’ali mu kalwaliro akaabadde okumpi, naye nga n’abeddwaaliro  balaajana kuba sseefu mwe batereka
ssente ababbi baagibagguzzaawo ne bakuuliita ne ssente. Baabadde bakyali awo, ne baleeta abantu abalala basatu nga nabo batonnya musaayi, ng’ababbi baakamala okubakuba. Obujulizi nga buno bubunye emitimbagano, ekireese entiisa mu Bannakampala n’abatuuze b’e Mukono ne Wakiso.
POLIISI EKUTTE 166
Poliisi olwabitegedde, n’ekola ebikwekweto mu bitundu eby’enjawulo mwe yayooledde abavubuka 166 abateeberezebwa okwenyigira mu bubbi buno. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yagambye nti baafunye emisango okuva mu bitundu eby’enjawulo ng’abantu beemulugunya ku bubinja bw’abavubuka obuteega abantu ne babanyakulako amasimu, okubakuba ppeeva, n’ebikolobero ebirala.
Yagambye nti, poliisi y’e Nsangi ku Ssande yakoze ekikwekweto wakati wa ssaawa 2:00 ez’ekiro ne 7:00 mu Kyengera, Kazinga, Nabaziza, Wakimese, Masanda, Kinaawa,
Kikajjo, Kasenge ne Nakasozi ne bakwata abantu 80.
 Poliisi y’e Kajjansi nayo yakoze ekikwekweto mu Akright Estate ne mu Kinyarwanda ne bakwata abantu 15. Poliisi y’e Nateete nayo yakoze ekikwekweto eggulo ku makya e Busega Zooni 8, Musoke Zooni, Kabaawo, Busega Central ne Kibumbiro
n’ekwata abantu 71. Poliisi yazudde ng’abamenyi b’amatteeka beekweka mu bifulukwa, ennyumba ezitannaggwa, ebifo we bazimba, n’ebbaala ezikola okusukka mu budde obulambikiddwa