OMULIRO gusanyizaawo emmaali y’abasuubuzi abasoba 600 mu kawempe poliisi n’amagye byawaaliriziddwa okukuba amasasi mu bbanga okugumbulula abavubuka baabadde bagufudde omugano okubba emmaali y’abasuubuzi.
Ebintu ebisanyizoddwawo omuliro
Ekifo kino kibadde kikoleramu ababazi , mu baddemu galagi, woteeri, amayumba , we balundira embizzi , abatunda ebikozesebwa mu kukola ebibagye n’ebirala ng’abasuubuzi baagambye nti omuliro gulabika gwavudde ku masannyalaze ate abalala baagambye waliwo ababadde balundira embizi mu kifo kino nga kirabika beebakumye omuliro ogwaviriddeko obuzibu.
Moses Kigozi ssentebe wa Min triangle zooni omwakutte omuliro yagambye abasuubuzi abaafiiriddwa emaali mu kusooka baali bakolera ku nkulungo y’okubiri wabula mu 2023 omuliro gwasanyawo emaali yaabwe ne basalawo okusenguka ne badda mu kifo kino ng’era abasinga tebaakwasizzamu byonna byasanyewo .

Yagambye nti kifo kibaddemu amayumba g’abapangisa n’abasuubuzi we yasabidde minisita w’ebiggwa tebiraze okuvaayo okuyamba ku basuubuzi bano kuba abasinga ssente zibadde baazewoola abalala zibadde za PDM nga kati baasigadde mu banga .
Godfrey Okobo omumyuka wa kulira ebikwekweto ebizikirizza omuliro yategeezezza nti tebanazuula kyavuddeko omuliro naye basuubira gwavudde masannyalaze , obulagajavu bw’abasuubuzi , yagasseko nti baageezezzako okutuuka mu bwangu naye baafunye obuzibu bwa makkubo nga mmotoka tezirina w’eyita kutuuka mu kifo.

Julius Kakooza omu baabaddewo yagambye nti omuliro gwatandikidde mu kibanda kya Davi ng’esaawa zaabadde zigenda mu mukaaga wabula abavubuka abaazze ng’abaddukirize ate bazze mu kubba ebintu by’abasuubuzi ekyawalirizza amagye ne poliisi okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula ate abalala bazze ku mmere eyabadde mu woteeri ne bagirya .
Moses Kigongo ssentebe wa Kaleerwe zooni yagambye nti bateberezza okuba nti waliwo abagagga abali emabega w’omuliro oguzze gukwata mu kawempe kuba ekisinga okubeewunyisa omuliro olumala okukwata abasuubuzi tebabakirizza okuzaawo kino kino balala bibaati nga bikubiddwa mu kifo we babadde bakolera