Amawulire

Eby'okuyimbula Mabiriizi bijulidde

Ebya munnamateeka Mabiriizi okusaba okweyimirirwa bijulidde oluvannyuma lw'oludda oluwaabi okusaba obudde okunoonyereza ku mpapula z'abantu abazze okumweyimirira. 

Mabirizi ng'ali mu kaguli ka kkooti
By: Harriet Nakalema, Journalists @New Vision

Ebya munnamateeka Mabiriizi okusaba okweyimirirwa bijulidde oluvannyuma lw'oludda oluwaabi okusaba obudde okunoonyereza ku mpapula z'abantu abazze okumweyimirira.

Mabiriizi nga akulembeddwamu bannamateeka be okuli Anthony Asiimwe n'abalala basabye omulamuzi Ritah Neumbe Kidasa akkirize omuntu waabwe okweyimirirwa kuba omusango ogumuvuunanibwa mu mateeka akkirizibwa okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti.

Mbubazze okumweyimirira okwabadde baganda be okuli Rukayat Ssebadduka 56, Ismail Male Nsereko 32, munnamateka Nasser Kibazo ne Coas Mbaziira nga ono mukwano gwa Mabiriizi.

Asiimwe yasasabye kkooti ekkirize eyimbule omuntu waabwe ku kakalu ka kkooti awatali kumuteekako bukkwakulizo wamu n'okumuta awatali kutanzibwa kuba talina mulimu mwajja ssente zimubeezaawo.

Oludda oluwabi nga lukulembeddwamu muwabi wa gavumenti Richard Birivumbuka ne Joan Keko lwasabye kkooti okubawayo obudde okweteekateeka okwanukula oludda lwa Mabiriizi ku kusaba kwokweyimiriwa kuba babadde tebeetegese kimala.

Ensonga endala kwebasinzidde okusaba kkooti okubongeramu obudde kwekuba nti Mabiriizi yaleese abamweyimiridde beyagasse ku mpaaba ya kkooti ate nga mu baabadde tebabateekayo ku ntaandikwa.

Omulamuzi omusango yagwongeddeyo okutuusa nga February 27 okuwuliririza okwanukula kwoludda oluwabi.

Mabiriizi awerennemba ne misango 4 okuli egyokusaasaanya obubaka abukyamu wamu n'okusiga obukyayi bweyakozesa ebyuma bi kaimagezi nga agamba nti Ssabalamuzi w'eggwanga Flavian Zeija n'omulamuzi wa kkooti ejulirwamu Musa Ssekaana bali wanguzi.