KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaami b'emiruka mu Buganda okuzzaawo Ekitiibwa ky'Obwami buno nga kirabikira mu mbeera zaabwe, enneeyisa n'enkolagana yaabwe n'abantu be bakulembera.
Katikkiro Mayiga agambye nti singa banaakola kino, kijja kwongera okuganjisa emirimu gyaabwe ate n'Obwakabaka okutwalira awamu.
Okwogera bino abadde asisinkanye abaami b'emiruka okuva mu masaza ga Buganda gonna ng'ensisinkano Eno ebadde ku mbuga y'Obwakabaka enkulu e Bulange-Mmengo emisana ga leero.
Katikkiro Mayiga era awadde abaami bano amagezi nga bakola emirimu Okuzimba Ttiimu enzigumivu era ez'amanayi eyo mu bitundu byaabwe ate bakola kino bamanye n'obuvunanyzibwa bwe balina bwe butambuzibwa okuggyamu omulimu omulungi.

Ow'okitibwa Kawuki ng'ayogera
Minisita Joseph Kawuki avunanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu, Okulambula kwa Kabaka n’abantu ba Kabaka ababeera ebweru asabye abaami b’emiruka bwebaddayo okuteeka amaanyi mu kussa essira kweebyo Katikkiro by’abakubirizza saako okutambuza emirimu mu bitundu byaabwe ku sipiidi eyayiriyiri.
Abaami b’emiruka ab’enjawulo abeetabye mu nsisinkano eno, boogedde ku byebayize era na biki byebagenda okutandikirako nga bazzeewo mu bitundu byaabwe.
Omukolo ogw'ekikula kino nga gwe gusoose bukya Bwakabaka bwa Buganda buddawo mu 1993, gwetabiddwako Baminisita okuli Ow'amawulire n'okukunga abantu Israel Kazibwe, Ow'abavubuka n'Emizannyo Robert Sserwanga, Omulangira Wilberforce Golooba nga ye mwami atwala omuluka gwa Kikuubo mu massekkati ga Kampala n'abalala