EMISINDE gy'amzaalibwa ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II 2026 gitongozeddwa nga gyakuddukibwa nga April 12,2026 mu Lubiri e Mmengo.
Bwabadde atongoza emisinde gino egy'omulundi ogwe 13 e Bulange-Mmengo , Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu okuwuliriza eddoboozi lya Kabaka eribakubiriza okwewala mukenenya, alwayidibwe 2030 wanatuukira ng'amaliddwawo.

“Kyembagambye nti bwetujja ne tudduka, eddoboozi lya Kabaka tuba tulisaasanya wonna, abantu bategere nti siriimu akyaliwo…Amawulire ago mugasasanye,tugobe wano siriimu,” Mayiga bwagambye.
Katikkiro Mayiga akunze abantu okwanguwa okugula emijoozi gino beetabe mu misinde gino n'asaba abasajja okwongera okubeera abagezigezi nga benyigira mu bikolwa by'okwegatta, baleke kusiiga abakyala bulwadde bwa siriimu.
Omukunganya w'Olupapula lwa Bukedde, Micheal Mukasa Ssebbowa agambye nti kkampuni eno egenda kuwagira emisinde gino n’obukadde 100 ng’emikutu gyonna egitwalibwa Vision Group nga gisasanya amawulire agakwata ku misinde gino ne kaweefube w’okulwanyisa mukenenya.

Kb 7
“ Ssabasajja Omulamwa gwatuwadde gwa kulwanyisa siriimu era ffe nga Bukedde, Vision Group okutwalira awamu tugenda kuguwagira ne ssekuwagira yenna okulaba nga 2030 watuukira tewali muntu yenna akwatibwa bulwadde buno,” Ssebbowa bwayogedde.
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Polof. Twaha Kaawaase era nga ye Ssentebe w'Olukiiko olutegeka emisinde gino agambye nti omujoozi omunaddukirwa gwakufunirwa ku 25000/- buli gumu era nti ku mulundi guno baagala abantu 130000 okugyetabamu okuva ku 120000 abagyetabamu omwaka oguwedde.
Ku lwa Airtel Uganda, Soumendra Sahu, nga y’agikulira ayagaliza Kabaka Mutebi II obulamu obulungi ng’Obuganda bwetegekera okujjaguza amazaalibwaage ag’emyaka 71 nga April 13,2026.

Abamu ku bakungu abeetabye mu kutongoza emisinde
Sahu ayongeddeko nti nga bo abavujjirizi abakulu ab’empaka zino, emisinde gino tegikoma ku kujjaguza amazaalibwa ga Kabaka kyokka wabula n’okuleeta awamu Bannayuganda okulwanyisa endwadde.
Ali Balunywa avunanyizibwa ku bakitunzi ba Airtel agambye nti basanyufu nnyo nti olunaku luno lutuuse n'akunga abantu okweyuna ebifo byonna ebitundibwamu emijoozi okuggyefunira nga batandikira ku madduuka ga Airtel, ku kitebe Kya Vision Group etwala ne Bukedde Fa Ma Embuutikizi, e Bulange-Mmengo n'ebirala.

Kb 10
Ye Dr. Ruth Ssenyonyi nga y'akulira Uganda Aids Commission abuulidde Katikkiro Mayiga ng'essira omwaka guno bwerigenda okuteekebwa ku kulaba nga tewabeera baana bazaalibwa na siriimu.
Abajjulizi b’emisinde gino abalala kuliko aba Newvision, I & M bank ekikkiriddwa Sam Ntulume, UNAIDS, Nivana, Fireplace, BBS, CBS, Daily Monitor era bonna babaddewo ku mukolo guno.