Amawulire

Paul Kyalimpa awadde amagezi ku by'obusuubuzi

ABADDE omumyuka wa Ssentebe  wa FDC mu Buganda, Munnamateeka Yusuf Nsibambi asaze eddiiro  mu butongole okuva mu FDC ne  yeesogga ekibiina kya NRM n’awera  okuleeta banne abalala abasoba mu  150 nabo abayingize mu NRM.

Paul Kyalimpa ng'ayogera
By: Teopista Nakamya, Journalists @New Vision

EYALI amyuka akulira ekitongole ekisizi ky'ensimbi mu ggwanga Paul Kyalimpa asonze ku bintu  Bannayuganda abakaaba obwavu byebayinza okwenyigiramu okunoga ensimbi.

Kuliko okwenyigira mu by'obusuubuzi nga okutwala ebweru w'eggwanga emmere nga obummonde, amatooke, ebijanjaalo n'ebiringa ebyo oluvanyuma lw'okubakakasa ku katale. Ebirala  kuliko okusuubula sipeeya w'emmotola n'okuzikola saako n' okukola amassimu.

Abadde ku National Theater mu Kampala nga ayogerako ne Bannamawulire ku ngeri minisita Matia Kasaija bwe baali bavuganya ku kifo ky'omubaka wa palamenti ekya Buyanja gyeyamuwangula mu akalulu akakaggwa.

Akatale k'ebyamaguzi naddala eby’omutindo yagambye wekali nga ekyetaagisa be Bannayuganda okuteekamu amaanyi.

Ebimu ku bigenda okwaguyisa ebyamaguzi bino okutuuka amangu mu butale z'enguudo n'asaba Gavumenti okufuba okumaliriza oluguudo lw'eggàali y'omukka okwanguyiza abasuubuzi.

Asinzidde wano, n'asaba bonna abawanguddwa mu kalulu okusookera ddala okukikiiza mu mitima nti bawangulwa oluvanyuma bakwatagane n'abawanguzi okuweereza Bannayuganda.

Abawabudde obutatabangula mirembe nti kubanga kimu ku biretera eggwanga okuddirira mu by'enfuna.

Okukkiriza nti owanguddwa Kyalimpa yagambye nti,  kabonero akalaga nti omuntu mukulu mu birowoozo era yeyamye okukolagana ne Kasaija abantu be Buyanja bafune empeereza ennungi.

Yakkiriza nti Kasaija yamukubira wala mu kalulu kyokka bweyabuuziddwa ekyamulemesa okukkiriza nti yawangulwa mu kamyufu yannyonnyodde nga bwe waliwo abalonzi abaatya okwetaba mu kamyufu k'okumugongo nebaamulagira ajje nga "independent".