BANNAYUGANDA abasoba mu 1,000 gakyabeesibidde e Cambodia olw’okubulwa ssente ezisasula tiketi z’ennyonyi ezibakomyawo wadde nga bakkiriziddwa okutambula nga tebalina mpapula ziboogerako ne basonyiyibwa n’engassi.
Omubaka wa Uganda e Malaysia, Betty Bigombe era nga y’avunaanyizibwa ku mawanga okuli; Cambodia, Myanmar ne Vietnam yategeezezza Bukedde nti, Cambodia yakkirizza okuwa ekisonyiwo Bannayuganda abali mu ggwanga eryo mu bukyamu.
Embeera okuboonoonekera kyava ku Gavumenti ya America okussa akazito ku Cambodia nti, yaakubakolako singa tebalwanyisa bafere. Gavumenti ya Cambodia yatandika ebikwekweto era bangi ku bakulira kkampuni z’abafere ng’abasinga baali Bachina abadduka Bannayuganda ne basigala nga tebalina gye balaga era bangi baakwatibwa ate abalala basiiba n’okusula ku nguudo.
Gye buvuddeko, Bigombe yawandiikira Gavumenti ya Cambodia ng’abasaba bakkirize Bannayuganda abaayingizibwa mu bukyamu okufuluma nga tebagguddwaako musango. Olw’okuba nga bangi tebaalina mpapula ate nga n’abazirina zaayitako, bwe bakwatibwa batanzibwa ssente nnyingi ze batalina.
Bigombe yakakasizza Bukedde nga Cambodia bwe yakkirizza okuwa Bannayuganda bonna empapula z’ebitambuliso nga bavaayo. Buli lunaku lw’omala e Cambodia nga lusukka mu ze walina okubeerayo, bakusasuza 37,000/- mu za Uganda. Waliwo abawezezza emyaka n’okusingawo era baabadde balina okusasula ssente eziri mu bukadde.
“Twalagira Bannayuganda batandike okwewandiisa ku kitebe kyaffe era 700 ku bo baakikoze, kyokka omuwendo tugusuubira okweyongerako kuba waliwo abali mu nkambi z’Abachina. Kyokka kye balina okumanya tewali Munnayuganda, Gavumenti gw’egenda kusasulira tiketi emuzza,” Bigombe bwe yagambye.
Kyokka yalaze okutya nti, ekisonyiwo ekyabaweereddwa abamu bayinza obutakiganyulwamu singa tebayambibwako kuba tebalina ssente.“Bangi basula njala ku nguudo olw’ebbulwa ly’ensimbi. Tusaba ebitongole ebigabi by’obuyambi, abeng’anda n’abazirakisa okubayamba,” Bigombeb bwe yagasseeko.
WALIWO ABEEGULIDDE TIKETI
Kenny Oloka, akulira ekitongole ky’obwannakyewa ekya Kyeyo Innitiative Uganda ekirwanirira bankubakyeyo yagambye nti, waliwo Bannayuganda 50 abeegulidde tiketi era basuubirwa okutuuka ku butaka wakati wa February 20 ne 25, 2026. Okusoomoozebwa okulala kwe balina, y’endabirira y’abantu abali e Cambodia kuba tebalina kye balya n’okusula. Okutya okulala, tebamanyi kisonyiwo lwe kinaggwaako kuba kiyinza okuggwaako nga tebannafuna ssente zibakomyawo. Oloka agamba nti, Bannayuganda abamu baasuubizibwa ssente eziri wakati wa doola za America 1,000 ne 2,000 (3,500,000/- ne 7,000,000/-). Abaalinnyira e Ntebe baabawa ‘visit visa’, ne babakolera ku mpapula endala nga tebategedde nti, bakukusibwa. Bwe baatuuka e Cambodia baatwalibwa mu nkambi nga tebasobola kuvaayo. Baabalagira okutandika okufera mu kkampuni z’Abachina n’okusikiriza bannaabwe okubeeyungako.
Omuntu gy’akoma okuyingiza ssente n’ensako, kyokka obuzibu ne bw’ofuna ssente tolina bw’oziweereza.
ABALI E CAMBODIA BALAAJANA
Munnayuganda eyasabye tukozese lya Nankya, yagambye nti, obuzibu bwe basanze n’abalinamu ku ssente tebasobola kupangisa nnyumba kuba tebalina biboogerako. Omulala yagambye nti, bakama be baali bamusasula bulungi ng’awezezza obukadde 50 kyokka olw’okuba teyalina ngeri gy’azisindikamu Uganda, zonna yazirya kuba abadde agulirako banne ekyokulya nga bafa enjala. Sylivia eyava e Mukono yagambye nti, yali akola Dubai mu saluuni ng’asasulwa 1,200,000/- omwezi, kyokka mukwano gwe
n’amusendasenda ne bagenda e Cambodia nga bamusuubizza okumuwa 3,000,000/-. Yakolayo omwezi gumu, kkampuni ne bagiggala era byonna abyejjusa. Ye Lawrence yagambye teyamanya ngeri gye yatuukamu Cambodia kuba eyamusomera ddiiru
yamugamba Canada, kyokka yafundikira ali Cambodia. Agamba nti, yaleka atunze poloti gye yalina nga talina kintu ky’ayinza kutunda afune ssente za tiketi CAMBODIA EKOZE EBIKWEKWETO
Omukutu gw’amawulire ogwa ‘The Phnom Penh Post’ gwategeezezza nga Gavumenti bwe yasisinkanye ababaka b’amawang 26 n’abakiise mu mukago gwa Bulaaya ne boogera ku kizibu ky’abafere b’oku yintaneeti.
Gavumenti egamba nti, wakati wa June 2025 n’entandikwa ya 2026 esaanyizzaawo ebifo 200 ne bawamba bye babadde bakozesa okuli kompyuta 10,444 n’amasimu 36,476 n’ebirala. Abagwiira abasukka 8,000 baalagiddwa okwamuka Cambodia era nga waliwo abanoonyezebwa abakuliramu obufere buno.
Bagasseeko n’okukolagana n’amawanga awava abagwiira babakolere entegeka ezibazza
mu nsi zaabwe. Waliwo abakulira obubinja bw’abamenyi bw’amateeka abasukka 500 abakwatiddwa ne baggalirwa.
OWANGE YAGENDA BAMUSUUBIZZA MULIMU GWA MASANNYALAZE
Judith Akiiki ow’e Kiwala mu Divizoni y’e Nama e Mukono, alaajana olwa mutabani we Victor Mutiti 24, eyagenda nga bamusuubizza omulimu gwa byamasannyalaze
n’atuukayo ng’alina kufera.
Akiiki yagambye nti, mutabani we alina mukwano gwe eyamusendasenda ne banne abalala 5 ng’abagamba nti, akolera Cambodia nga yali asasulwa obukadde musanvu omwezi. Yagenda mu August wa 2025, naye bwe yatuukayo ng’alina kufera era bwe yabigaana ne bamukuba n’okumusiba okutuusa lwe yadduka.
“Mutabani wange antegeeza nti, asula mu ppaaka ya mmotoka nga balimu abawera 600. Yansabye nnoonye eza tiketi, naye sirina kye nnina era nsaba buyambi,” Akiiki bwe yagambye.