Amawulire

ABADDE akulira ekitongole ky'abantu abayingira n'okufuluma eggwanga Maj. Gen Apollo Kasiita Ggoowa ne  Brig Gen Johnson Namanya abadde akulira ebya pasipoota bazziddwayo ku kitebe kya UPDF

ABADDE akulira ekitongole ky'abantu abayingira n'okufuluma eggwanga Maj. Gen Apollo Kasiita Ggoowa n'omulala  Brig Gen Johnson Namanya abadde akulira ebya pasipoota, bayitiddwa okuddayo ku kitebe kya UPDF okuweebwa emirimu emirala.

ABADDE akulira ekitongole ky'abantu abayingira n'okufuluma eggwanga Maj. Gen Apollo Kasiita Ggoowa ne  Brig Gen Johnson Namanya abadde akulira ebya pasipoota bazziddwayo ku kitebe kya UPDF
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision


ABADDE akulira ekitongole ky'abantu abayingira n'okufuluma eggwanga Maj. Gen Apollo Kasiita Ggoowa ne  Brig Gen Johnson Namanya abadde akulira ebya pasipoota, bayitiddwa okuddayo ku kitebe kya UPDF okuweebwa emirimu emirala.

Bano baawerezebwa mu minisitule y'ensonga ezomunda mu ggwanga mu mwaka gwa 2018 okutuusa lwe bagiddwayo ku Lwokuna lwa wiiki ewedde.

Babaddewo nga pasipoota zikyusibwa okuva ku ziri ezabulijjo enkadde, okuddizibwa mu zadigital era ng'omulimu , bagukoze bulungi mu nkyukaakyuka eno.

Omwogezi wa minisitule eno Simon Mundeyi, ategeezezza nti mu kiseera kino emirimu gigenda bulungi era n'asiima emirimu gye bakozi n'abaagaliza emikisa mu mirimu gyabwe emirala.